1Awo enjala bwe yayinga obungi mu nsi,
2era nga ne mmere gye baggya e Misiri yonna eriiriddwa, kitaabwe nʼabagamba nti Mugende mutugulire emmere.
3Naye Yuda nʼamuddamu nti, “Omusajja yatukuutirira ddala ngʼagamba nti, ‘Temulinyanga ekigere mu maaso gange nga temuzze na muganda wammwe.’
4Bwʼonokkiriza tuserengete ne muganda waffe okugula emmere, olwo tunaagenda.
5Naye bwʼotomukkirize kugenda naffe, tetujja kuserengeta, kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temugenda kulaba maaso gange nga muganda wammwe tali nammwe.’”
6Isirayiri kwe kubaddamu nti, “Mwankola ki kino ekyʼobubalagaze ne mugamba omusajja nti mulina muganda wammwe omulala.”
7Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu nʼebifa ku lulyo lwaffe, ngʼabuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?’ Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ngʼanaatugamba okuserengesa muganda waffe.”
8Era Yuda nʼagamba Isirayiri kitaawe nti, “Mpa omulenzi tulyoke tugende tube balamu, tuleme okufa enjala, ffe naawe nʼabaana baffe.
9Nze newaddeyo okumukuuma, olimubuuza nze. Bwe sirikumuddiza, ne mussa mu maaso go mbeereko omusango ennaku zonna.
10Kubanga singa tetwalwa twandibadde tukomyewo omulundi ogwokubiri.”
11Awo Isirayiri kitaabwe nʼabagamba nti, “Bwe kinaaba bwe kityo, kale mukole bwe muti: mutwale ebimu ku bibala bya muno mu nsawo zammwe, mutwalire omusajja ekirabo: envumbo ntono, nʼomubisi, nʼomugavu, nʼobubaane ne mooli nʼebinyeebwa ne Alumoni.
12Mutwale nʼensimbi za mirundi ebiri nga mutwala na ziri ezaali ku mimwa gye nsawo zammwe, osanga omuntu yakola nsobi.
13Mutwale ne muganda wammwe, musituke muddeyo eri omusajja.
14Katonda Ayinzabyonna abawe omukisa mu maaso gʼomusajja, alyoke aleke muganda wammwe oli awamu ne Benyamini bakomewo. Obanga obulumi bwʼokufa kwʼabaana bange bulintuukako, kale.”
15Awo ne batwala ebirabo nʼensimbi za mirundi ebiri, ne Benyamini ne baserengeta naye e Misiri ne bayimirira mu maaso ga Yusufu.
16Awo Yusufu bwe yalaba nga bali ne Benyamini nʼagamba omuweereza we nti, “Bayingize mu nnyumba, otte ensolo ofumbe ekijjulo, kubanga abasajja abo baakulya nange ekyʼemisana.”
17Omusajja nʼakola nga Yusufu bwe yamulagira, nʼayingiza abasajja mu nnyumba ya Yusufu.
18Abasajja ne batya olwʼokutwalibwa mu nnyumba ya Yusufu, ne bagamba nti kino kizze lwa nsimbi ezatuddizibwa ne ziteekebwa mu nsawo zaffe omulundi guli, kyetuvudde tuleetebwa wano, anoonye ensonga ku ffe atuvunaane, atufuule abaddu awambe nʼendogoyi zaffe.
19Awo ne bambuka nʼomuweereza mu nnyumba ya Yusufu,
20ne bagamba nti Ayi mukama waffe, twajja omulundi ogwasooka okugula emmere,
21bwe twatuuka mu kifo we twasula, ne tusumulula ensawo zaffe, nga mu buli kamwa kʼensawo ya buli omu mulimu ensimbi ze ezaali ezʼokugula emmere, kyetuvudde tuzizza,
22era tuleese nʼendala olwʼokugula emmere. Tetumanyi yateeka nsimbi mu nsawo zaffe.
23Ye nʼabaddamu nti, “Mubeere bagumu temutya. Katonda wammwe era Katonda wa kitammwe ye yabateekera obugagga mu nsawo zammwe; ensimbi zammwe nazifuna.” Awo kwe kubaleetera Simyoni.
24Omusajja bwe yamala okuyingiza abasajja abo mu nnyumba ya Yusufu, nga bamaze nʼokunaaba ebigere, ngʼamaze nʼokuliisa endogoyi zaabwe,
25ne bateekateeka ekirabo kya Yusufu bakimuwe mu ttuntu, kubanga baamanya nga bajja kuliira eyo.
26Yusufu bwe yakomawo eka ne bamuleetera ekirabo kye baalina ne bamuvuunamira.
27Nʼababuuza bwe bali, nʼababuuza nti, “Kitammwe akyali mulamu bulungi?”
28Ne bamuddamu nti, “Ssebo, kitaffe akyali mulamu era ali bulungi.” Ne bavuunama mu bukkakkamu.
29Yusufu bwe yayimusa amaaso, nʼalaba Benyamini muganda we, mutabani wa nnyina. Nʼababuuza nti, “Ono ye muto wammwe gwe mwantegeezako? Katonda akuwe omukisa mwana wange.”
30Awo Yusufu nʼayanguwa okuva mu maaso gaabwe, kubanga omutima gwe gwalumwa olwa muganda we, nʼanoonya ekifo wʼanaakabira. Nʼalinnya mu kisenge kye nʼakaabira eyo.
31Nʼanaaba amaziga nʼafuluma, nʼaguma nʼalagira emmere egabwe.
32Ye ne bamuwa eyiye yekka, ne baganda be bokka, nʼAbamisiri abalya naye nabo ne bagabulwa bokka, kubanga Abamisiri tebalyanga nʼAbaebulaniya, kubanga kyali kivve eri Abamisiri.
33Awo baganda ba Yusufu ne batuula mu maaso ge nga baddiriŋŋana okuva ku mukulu mu buzaale bwabwe okutuuka ku muto; ne batunulaganako nga beewuunya.
34Yusufu nʼabakoleza ebitole okuva ku mmeeza ye, naye ekitole kya Benyamini ne kisinga ekya baganda be emirundi etaano. Bwe batyo ne balya ne basanyukira wamu ne Yusufu.