Olubereberye 44:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yusufu nʼalagira omuweereza mu nnyumba ye nti, “Jjuza ensawo zʼabasajja emmere nga bwe basobola okugyetikka, era oteeke ensimbi za buli omu mu nsawo ye.

2Era oteeke ekikopo kyange, ekya ffeeza, mu kamwa kʼensawo ya muto waabwe, wamu nʼensimbi ze ezʼokugula emmere.” Nʼakola nga Yusufu bwe yamugamba.

3Emmambya eba evaayo abasajja ne basiibulwa nʼendogoyi zaabwe.

4Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu nʼagamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bwʼobatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olwʼebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza?

5Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’”

6Bwe yabatuukako nʼabategeeza ebigambo ebyo.

7Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ngʼekyo?

8Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gyʼensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo?

9Oyo gwʼonookisanga nakyo mu ffe abaddu bo, afe, era naffe tuliba baddu ba mukama wange.”

10Nʼabaddamu nti, “Kale kibeere nga bwe mwogedde, oyo anaasangibwa nakyo abeere muddu wange, naye abalala mu mmwe tewaabe abaako kyʼavunaanwa.”

11Amangwago buli omu nassa ensawo ye wansi nʼagisumulula.

12Nʼalyoka abaaza ngʼasookera ku asinga obukulu okutuuka ku asembayo obuto; ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini.

13Awo ne bayuza engoye zaabwe, buli omu nʼatikka endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.

14Yusufu yali akyali mu nju, Yuda ne baganda be bwe baatuuka gyʼali, ne bagwa mu maaso ge ne bamuvuunamira.

15Yusufu nʼabagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?”

16Yuda nʼaddamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bwʼabaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe nʼoyo asangiddwa nʼekikopo.”

17Yusufu nʼaddamu nti, “Ekyo sijja kukikola, wabula oyo asangiddwa nʼekikopo, yʼanaaba omuddu wange, naye mmwe mwambuke mirembe, mutuuke eri kitammwe.”

18Awo Yuda nʼalaga eri Yusufu nʼagamba nti, “Ayi mukama wange nkusaba omuddu wo abeeko kyayogera gyʼoli, nʼobusungu bwo buleme kubuubuuka eri omuddu wo; kubanga oli nga Falaawo yennyini.

19Mukama wange yabuuza abaweereza be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’

20Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka yʼaliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’

21“Nʼolyoka ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmulabeko.’

22Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bwʼamuvaako, kitaawe alifa bufi!’

23Nʼoddamu abaddu bo nti, ‘Muto wammwe bwʼataliserengeta nammwe, temugenda kulaba maaso gange.’

24Bwe twaddayo eri omuddu wo kitaffe, twamutegeeza ebigambo ebyo, mukama wange.

25Kale kitaffe bwe yagamba nti, ‘Muddeeyo mutugulire ku mmere,’

26ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bwʼatagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’

27“Awo omuddu wo, kitaffe nʼatugamba nti, ‘Mumanyi, mukazi wange yanzaalira abaana abalenzi babiri;

28omu yambulako, ne njogera nti Mazima yataagulwataagulwa; era siddangayo kumulaba.

29Bwe muntwalako nʼono, akabi ne kamutuukako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkungubaga.’

30“Kale kaakano, bwe nzirayo eri omuddu wo kitange ngʼomulenzi tali naffe, obulamu bwe nga bwe bunyweredde ku bwʼomulenzi,

31bwʼanaalaba ngʼomulenzi tali naffe, ajja kufa, nʼabaddu bo baliserengesa envi zʼomuddu wo kitaffe emagombe ngʼakyakungubagira omwana we.

32Kubanga omuweereza wo yeeyimirira omulenzi eri kitange; nga ŋŋamba nti, ‘Bwe sirimuzza gyʼoli ndiba nʼobuvunaanyizibwa nʼokunenyezebwa ennaku zonna ezʼobulamu bwange.’

33“Kale kaakano nkwegayirira, omuddu wo nsigale ngʼomuddu wa mukama wange, mu kifo kyʼomulenzi; omulenzi omuleke addeyo ne baganda be.

34Kale nʼaddayo ntya eri kitange ngʼomulenzi tali nange? Ntya okulaba akabi akayinza okutuuka ku kitange.”

>