Olubereberye 45:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yusufu nʼatasobola kwefuga nʼalemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, “Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange.” Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be.

2Awo nʼakaaba mu ddoboozi eryʼomwanguka, nʼAbamisiri ne bamuwulira era nʼennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira.

3Yusufu nʼagamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge.

4Awo Yusufu nʼagamba baganda be nti, “Mbasaba munsemberere.” Ne basembera gyʼali. Nʼabagamba nti, “Nze muganda wammwe Yusufu gwe mwatunda e Misiri.

5Naye kaakano temuggwaamu mwoyo, oba temwekubagiza olwʼokuntunda wano, kubanga Katonda yantuma mbasookeyo nsobole okuwonya obulamu.

6Kubanga enjala ebadde mu nsi okumala emyaka gino ebiri; era wakyaliyo emirala etaano egitalibaamu kulima wadde okukungula.

7Era Katonda yantuma mbasookeyo mbakuumire abalisigalawo ku nsi; ndyoke mbawonyezeewo abantu abangi ennyo mu ngeri eyʼekitalo.”

8“Noolwekyo si mmwe mwansindika wano, wabula Katonda; era anfudde kitaawe wa Falaawo, era mukama wʼennyumba ye era omufuzi wʼensi yonna eyʼe Misiri.

9Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bwʼati mutabani wo Yusufu bwʼagamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa;

10ojja kubeera mu Goseni[36], olibeera kumpi nange. Ggwe nʼabaana bo, nʼabaana bʼabaana bo, ebisibo byammwe, amagana gammwe ne byonna bye mulina;

11eyo gye nnaabagabiririranga; si kulwa nga mmwe nʼennyumba zammwe ne byonna bye mulina biggwaawo.’ ”

12“Era kaakano mwerabiddeko nʼamaaso gammwe era ne muganda wange Benyamini akyerabiddeko nti nze njogera nammwe.

13Muteekwa okutegeeza kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri, ne byonna bye mulabye. Temulwa, muserengese kitange wano.”

14Awo Yusufu nʼagwa Benyamini mu kifuba nʼakaaba ne Benyamini nʼakaabira ku kibegabega kye.

15Nʼagwa baganda be mu kifuba, nʼakaabira buli omu ku bo; nʼoluvannyuma baganda be ne boogera naye.

16Ebigambo ebyʼokujja kwʼabaganda ba Yusufu bwe byawulirwa mu nnyumba ya Falaawo ne bisanyusa nnyo Falaawo nʼabaweereza be.

17Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: mutikke ensolo zammwe muddeyo mu nsi ya Kanani,

18munone kitammwe nʼabantu bammwe nʼebyammwe mujje gye ndi, ndibawa ekifo ekisinga obulungi mu nsi yʼe Misiri, nammwe mulirya obulungi obwʼensi.’

19“Era balagire batwale amagaali okuva mu nsi yʼe Misiri olwʼabaana baabwe abato ne bakyala bammwe, mujje ne kitammwe.

20Wabula ebintu byammwe tebibateganya nnyo, kubanga ebisinga obulungi mu Misiri yenna bijja kuba byammwe.”

21Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo; Yusufu nʼabawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira nʼabawa nʼentanda eyʼomu kkubo.

22Buli omu ku bo nʼamuwa ebyambalo ebyʼokukyusa, naye ye Benyamini nʼamuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu nʼebyambalo ebyʼokuwanyisa emigogo etaano.

23Kitaawe nʼamuweereza endogoyi kkumi ezeetisse ebintu ebirungi ebyʼe Misiri nʼendogoyi enkazi kkumi ezeetisse emmere, emigaati nʼentanda ya kitaawe bwʼaliba ajja.

24Awo nʼasiibula baganda be. Bwe baali bagenda nʼabagamba nti, “Temuyombera mu kkubo.”

25Bwe batyo ne bambuka okuva mu Misiri ne batuuka mu nsi ya Kanani eri kitaabwe Yakobo.

26Bwe baatuuka ne bamutegeeza nti Yusufu akyali mulamu, era yʼafuga ensi yʼe Misiri yonna. Bwe yawulira ebyo nʼawunga nʼatasobola kubakkiriza.

27Naye bwe baamutegeeza ebigambo bya Yusufu byonna bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwala nʼaddamu omwoyo;

28nʼagamba nti, “Mmatidde, omwana wange Yusufu akyali mulamu. Nzija kugenda mulabe nga sinnafa.”

>