1Awo Isirayiri nʼaddira byonna bye yalina, nʼatandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba nʼawaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
2Katonda nʼayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, nʼamuyita nti, “Yakobo, Yakobo?”
3Katonda nʼamugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene.
4Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”
5Awo Yakobo nʼava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu nʼabaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala.
6Era ne batwala ebisibo nʼebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu nʼezzadde lye.
7Batabani be ne bazzukulu be, bawala be nʼabaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna nʼalireeta mu Misiri wamu naye.
8Gano ge mannya ga bazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo:
9
10
11
12
13
14
15Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi nʼaboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.
16
17
18Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.
19
20
21
22Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.
23
24
25Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.
26Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, abʼenda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga.
27
28Yakobo nʼatuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni.
29Awo Yusufu nʼateekateeka eggaali lye nʼagenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, nʼamweraga, nʼamugwa mu kifuba nʼakaabira mu kifuba kye okumala akabanga.
30Isirayiri nʼagamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”
31Yusufu nʼagamba baganda be nʼabʼennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange nʼennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi.
32Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe nʼebisibo byabwe ne byonna bye balina.’
33Kale Falaawo bwʼabayita nʼababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’
34Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”