Olubereberye 47:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yusufu nʼagenda eri Falaawo nʼamugamba nti, “Kitange ne baganda bange nʼamagana gaabwe nʼebisibo byabwe ne byonna bye balina bazze nga bava mu Kanani; kaakano bali Goseni.”

2Yalondako bataano ku baganda be, nʼagenda nabo ewa Falaawo.

3Falaawo nʼababuuza nti, “Omulimu gwammwe mulimu ki?” Ne bamuddamu nti, “Abaweereza bo tuli balunzi nga bajjajjaffe.

4Tuzze muno kunoonyeza bisibo byaffe muddo, kubanga abaddu bo tuva mu njala mpitirivu eri mu Kanani; ne kaakano abaddu bo tukusaba tubeere e Goseni.”

5Awo Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Kitaawo ne baganda bo bazze gyʼoli.

6Ensi yʼe Misiri gwʼogirinako obuyinza, teeka kitaawo ne baganda bo awasinga obulungi; bateeke e Goseni. Era obanga omanyi asobola mu bo muwe akuume ente zange.”

7Awo Yusufu nʼayingiza Yakobo, kitaawe nʼamwanjula eri Falaawo. Yakobo nʼasabira Falaawo omukisa.

8Falaawo nʼabuuza Yakobo nti, “Olina emyaka emeka?”

9Yakobo nʼaddamu nti, “Emyaka egyʼolugendo lwange mu nsi giri kikumi mu amakumi asatu; emyaka gyange gibadde mitono era mizibu; siwangadde nga bajjajjange.”

10Olwo Yakobo nʼasabira Falaawo omukisa nʼava mu maaso ga Falaawo.

11Awo Yusufu nʼasenza kitaawe ne baganda be e Misiri, nʼabawa ekitundu ekyali kisinga obulungi ekyʼe Goseni, mu Disitulikiti eyʼe Lamusesi nga Falaawo bwe yalagira.

12Yusufu nʼawa kitaawe ne baganda be nʼabʼennyumba ya kitaawe emmere ngʼomuwendo gwʼabaana baabwe bwe gwali.

13Awo emmere nʼeggwa mu kitundu ekyo kyonna kubanga enjala yayitirira obungi, ne kireetera ensi yʼe Misiri ne Kanani okukosebwa ennyo.

14Yusufu nʼakuŋŋaanya ensimbi zonna ezaali mu Misiri ne mu Kanani ngʼabaguza emmere; nʼazireeta mu lubiri lwa Falaawo.

15Awo ensimbi bwe zaggwa ku bantu bʼe Misiri ne Kanani ne bajja eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tuwe emmere. Ensimbi zituweddeko. Lwaki tufa?”

16Yusufu nʼabagamba nti, “Kale obanga ensimbi zibaweddeko mundeetere ensolo zammwe mbaguze emmere.”

17Awo ne bamuleetera amagana gʼenssolo zaabwe, omwali embalaasi, nʼendiga, nʼente, nʼendogoyi, okubiwaanyisaamu emmere; emmere eyo nʼebayisa mu mwaka ogwo.

18Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja eri Yusufu mu mwaka ogwaddirira ne bamugamba nti, “Tetuukukise mukama waffe, ensimbi zituweddeko nʼensolo zaffe zifuuse zizo tewali kye tusigazza, wabula emibiri gyaffe gino nʼebyalo byaffe.

19Tufiira ki nga wʼoli? Tugule ffe nʼebyalo byaffe otuwe emmere tuleme okufa, naffe tuliba baddu ba Falaawo, ensi yaffe ereme okuzikirira.”

20Bwʼatyo Yusufu nʼagulira Falaawo ensi yonna eyʼe Misiri. Abamisiri kinoomu, bonna ne batunda ebyalo byabwe kubanga enjala yali mpitirivu, ensi yonna nʼefuuka ya Falaawo.

21Bwe batyo nʼabantu baamu okuva ku njuyi zonna ne bafuuka baddu ba Falaawo.

22Ekitundu kya bakabona kye kyokka kyʼataagula, kubanga bo baasasulwanga Falaawo. Kye yabasasulanga kwe beeguliranga ebyokulya; bo kyebaava batatunda ttaka lyabwe.

23Awo Yusufu nʼagamba abantu nti, “Mulabe, olwa leero mbaguze mmwe nʼebyalo byammwe; mbagulidde Falaawo. Kale kaakano ensigo zino zammwe munaazisiga.

24Bwe mulikungula, muliwa Falaawo ekitundu kimu kya kutaano, ebitundu bina bya kutaano biriba byammwe, okuba ensigo mu nnimiro zammwe, nʼemmere ku lwammwe nʼabʼennyumba zammwe nʼabaana bammwe.”

25Ne bamuddamu nti, “Otuwonyezza okufa; mukama waffe bwʼanaasiima tuliba baddu ba Falaawo.”

26Awo Yusufu nʼateeka etteeka erikwata ku ttaka mu nsi yʼe Misiri; weeliri nʼokutuusa kaakano, nti ekitundu kimu kya kutaano kiba musolo gwa Falaawo; ettaka lyʼabakabona lyokka lye litaafuuka lya Falaawo.

27Bwʼatyo Isirayiri nʼabantu be ne babeera mu nsi yʼe Misiri, mu Goseni, ne bagaggawalira mu kitundu ekyo. Baazaala ne baala nnyo.

28Yakobo nʼamala mu Misiri emyaka kkumi na musanvu. Bwʼatyo Yakobo nʼawangaala emyaka kikumi mu ana mu musanvu.

29Ekiseera ekyʼokufa kwa Isirayiri bwe kyali kisembedde, nʼayita mutabani we Yusufu nʼamugamba nti, “Obanga nfunye ekisa mu maaso go teeka omukono gwo wansi wʼekisambi kyange, ondayirire ngʼonompulira nʼotonkuusakuusa: tonziikanga mu Misiri,

30onteekanga wamu ne bajjajjange. Olintwala nʼonziika ku butaka.”

30Yusufu nʼamuddamu nti, “Ndikola nga bwʼogambye.”

31Nʼamugamba nti, “Ndayirira.” Nʼamulayirira. Awo Isirayiri nʼakoteka omutwe gwe ngʼatudde emitwetwe wʼekitanda kye.

>