1Oluvannyuma Yusufu nʼategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bwʼatyo nʼatwala batabani be Manase ne Efulayimu;
2Yakobo nʼategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.”
3Nʼagamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani nʼampa omukisa.
4Nʼaŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza nʼosukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’
5“Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali.
6Nʼabo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe.
7Kubanga bwe najja ngʼava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri nʼanfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”
8Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu nʼabuuza nti, “Bano be baani?”
9Yusufu nʼaddamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda bʼampeeredde wano.”
10Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olwʼobukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu nʼabamusembereza, Yakobo nʼabagwa mu kifuba nʼabanywegera.
11Isirayiri nʼagamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba nʼabaana bo.”
12Awo Yusufu nʼabaggya ku maviivi ge nʼavuunama wansi.
13Yusufu nʼabatwala bombi, Efulayimu ngʼali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ngʼali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, nʼabamusembereza.
14Isirayiri nʼagolola omukono gwe ogwa ddyo nʼaguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, nʼomukono gwe ogwa kkono nʼaguteeka ku mutwe gwa Manase, nʼayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.
15Nʼawa Yusufu omukisa, nʼagamba nti,
16
17Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu nʼatakyagala, nʼakwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase.
18Nʼagamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”
19Naye kitaawe nʼagaana nʼagamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.”
20
21Ate Isirayiri nʼagamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo.
22Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli nʼekitala kyange nʼomutego gwange.”