Olubereberye 49:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yakobo nʼayita batabani be nʼabagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.

2Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo, muwulirize Isirayiri kitammwe.

3Lewubeeni ggwe mubereberye wange, amaanyi gange, ebibala ebibereberye ebyʼamaanyi gange, ekitiibwa nʼobuyinza ebiyitirivu.

4Naye tafugika, oli ngʼamayengo gʼennyanja, naye tokyali wa kitiibwa, kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo, mu nnyumba yange, nʼokyonoona.

4

5Simyoni ne Leevi baaluganda, ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.

6Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe. Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo. Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu, olwʼokwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.

7Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; nʼobukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima. Ndibaawula mu Yakobo, ndibasaasaanya mu Isirayiri.

7

8Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga. Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo. Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.

9 Yuda, mwana wʼempologoma. Oyambuse mwana wange, ngʼovudde ku muyiggo. Yakutama, yabwama ngʼempologoma. Ddala ngʼempologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?

10Era omuggo gwʼomufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda, okutuusa Siiro lwʼalijja; era oyo amawanga gonna gwe ganaawuliranga.

11Alisiba endogoyi ku muzabbibu, nʼomwana gwʼendogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi, ayoza ebyambalo bye mu wayini, nʼengoye ze mu musaayi gwe zabbibu.

12Amaaso ge galimyuka wayini, nʼamannyo ge galitukula okusinga amata.

12

13Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja; anaabanga mwalo gwʼamaato, ensalo ze ziriba ku Sidoni.

14Isakaali ndogoyi ya maanyi, ngʼakutama wakati mu bisibo byʼendiga;

15yalaba ngʼekifo kyʼokuwummuliramu kirungi; nga nʼensi esanyusa; nʼalyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula, nʼafuuka omuddu owʼokukozesebwanga emirimu egyʼobuwaze.

15

16Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be ngʼekika ekimu ku bika bya Isirayiri.

17Ddaani anaaba musota mu kkubo, essalambwa ku kkubo, eriruma ebisinziiro byʼembalaasi, omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.

17

18Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.

18

19Gaadi alirumbibwa ogubiina gwʼabanyazi, naye ye, alibafubutukira emabega.

19

20Aseri emmere ye eneebanga ngimu, era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.

20

21Nafutaali mpeewo ya ddembe, avaamu ebigambo ebirungi.

21

22Yusufu lye ttabi eribala ennyo, ettabi eribala ennyo eriri ku mugga; abaana be babuna bbugwe.

23Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo, baamulasa ne bamulumya nnyo;

24naye omutego gwe ne gunywera, nʼemikono gye ne gitasagaasagana. Olwʼomukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo, olwʼOmusumba, Olwazi lwa Isirayiri,

25Olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba, olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa, Omukisa oguva waggulu mu ggulu, Omukisa ogwa wansi mu buziba, Omukisa ogwʼomu lubuto ne mu mabeere.

26Omukisa gwa kitaawo gusinga omukisa gwa bajjajjange, gusinga egyo egyaweebwa bajjajja abʼedda. Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu, gibeere ne ku bukowekowe bwʼoyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.

26

27Benyamini musege ogunyaga, mu makya alya omuyiggo, mu kawungeezi nʼagaba omunyago.

28Ebyo byonna byʼebika ekkumi nʼebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ngʼabasabira omukisa. Buli omu ngʼamusabira omukisa ogumusaanira.

29Oluvannyuma nʼabakuutira nʼabagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,

30mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bwʼokuziikangamu.

31Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya.

32Ennimiro nʼempuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”

33Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, nʼazaayo ebigere bye mu kitanda, nʼassa omukka ogwʼenkomerero nʼafa nʼakuŋŋaanyizibwa eri abantu be.

>