Olubereberye 5:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda.

2Yabatonda omusajja nʼomukazi, nʼabawa omukisa nʼabatuuma, “abantu.”

3Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, nʼazaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, nʼamutuuma Seezi.

4Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu nʼamala emyaka lunaana, nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.

5Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, nʼafa.

6Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano nʼazaala Enosi.

7Seezi bwe yamala okuzaala Enosi nʼawangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.

8Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi nʼebiri nʼalyoka afa.

9Enosi bwe yaweza emyaka kyenda nʼazaala Kenani.

10Enosi bwe yamala okuzaala Kenani nʼawangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi nʼetaano, omwo nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.

11Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; nʼalyoka afa.

12Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu nʼazaala Makalaleri.

13Kenani nʼawangaala emyaka emirala lunaana mu ana, nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.

14Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi.

15Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano nʼazaala Yaredi.

16Bwe yamala okuzaala Yaredi nʼawangaala emyaka emirala lunaana mu asatu nʼazaaliramu abaana abalala aboobulenzi nʼaboobuwala.

17Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, nʼafa.

18Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri nʼazaala Enoka.

19Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka nʼawangaala emyaka emirala lunaana, omwo nʼazaaliramu abaana abalala aboobulenzi nʼaboobuwala.

20Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, nʼafa.

21Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano nʼazaala Mesuseera.

22 Enoka nʼatambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, nʼazaala abaana abalala aboobulenzi nʼaboobuwala.

23Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano.

24 Enoka yatambula ne Katonda, nʼataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.

25Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu nʼazaala Lameka.

26Bwe yamala okuzaala Lameka nʼawangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, nʼazaala abaana abalala aboobulenzi nʼaboobuwala.

27Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; nʼafa.

28Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri nʼazaala omwana owoobulenzi

29nʼamutuuma Nuuwa, ngʼagamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kwʼemikono gyaffe.”

30Lameka nʼawangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ngʼamaze okuzaala Nuuwa, mu gyo nʼazaaliramu abaana abalala aboobulenzi nʼaboobuwala.

31Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu.

32Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano nʼazaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.