1Awo Yusufu nʼagwa mu maaso ga kitaawe nʼakaaba, nʼamunywegera.
2Yusufu nʼalagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri;
3Baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu.
4Awo ennaku ezʼokukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu nʼayogera nʼennyumba ya Falaawo, nʼagamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti,
5‘Kitange yandayiza ngʼagamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mwʼonziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ”
6Falaawo nʼaddamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”
7Awo Yusufu nʼayambuka wamu nʼabaweereza ba Falaawo bonna, nʼabakulu bʼennyumba ye, nʼabakulu ba Misiri bonna,
8nʼabʼennyumba ya Yusufu, ne baganda be, nʼabʼennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni nʼebisibo byabwe nʼamagana gaabwe.
9Nʼagenda nʼamagaali nʼabeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo.
10Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ngʼosomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu nʼakungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu.
11Abantu abʼomu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
12Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira.
13Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be.
14Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe nʼaddayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.
15Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olwʼebibi byonna bye twamukola.”
16Kyebaava bamutumira nga bagamba nti, “Kitaawo bwe yali tannafa yatulagira nti
17tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya nʼekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gyʼoli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kwʼabaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba nʼakaaba.
18Baganda be ne bagenda gyʼali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.”
19Naye Yusufu nʼabagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda?
20Mwagenderera okunnumya, naye Katonda nʼakifuula ekirungi, nʼakikozesa abantu baleme okufa.
21Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe nʼabaana bammwe.” Bwʼatyo nʼabagumya nʼabazaamu amaanyi.
22Awo Yusufu nʼabeera mu Misiri, ye nʼennyumba ya kitaawe. Nʼawangaala emyaka kikumi mu kkumi.
23Nʼalaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu abʼomugigi ogwokusatu. Era nʼalaba nʼaba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.
24Yusufu nʼagamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira nʼabalinnyisa okubaggya mu nsi eno; nʼabatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.”
25Awo Yusufu nʼalayiza abaana ba Isirayiri ngʼagamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”
26Bwʼatyo Yusufu nʼafa, ngʼalina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe nʼateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.