1Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala.
2Abaana ba Katonda ne balaba ngʼabawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera.
3
4Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta nʼabawala bʼabantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.
5
6
7Awo Mukama nʼagamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, nʼensolo nʼebinyonyi, kubanga ne jjusizza olwʼokubitonda.”
8
9
10Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.
11Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ngʼejjudde eddalu.
12Katonda nʼalaba ensi, era laba, ngʼeyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu.
13Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi.
14Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke nʼenvumbo munda ne kungulu.
15Bwʼoti bwʼoba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, nʼobugazi mita amakumi abiri mu ssatu, nʼobugulumivu mita kkumi na ssatu nʼekitundu.
16Bwʼoliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, eryʼemyaliiro: ogwa wansi nʼogwokubiri, nʼogwokusatu.
17Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli
18Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe.
19Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja nʼekikazi bibeere biramu naawe.
20Ku binyonyi ebya buli ngeri, ne ku nsolo eza buli ngeri, na buli ekyewalula ekya buli ngeri, bibiri bibiri ebya buli ngeri birijja gyʼoli, bibeere biramu.
21Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo nʼebiramu byo.”
22Nuuwa nʼakola byonna nga Katonda bwe yamulagira.