1
2Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja nʼenkazi,
3era ne ku binyonyi ebyʼomu bbanga musanvu musanvu ekisajja nʼekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi.
4Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana nʼekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”
5Bwʼatyo Nuuwa nʼakola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira.
6Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi.
7Nuuwa nʼayingira mu lyato nʼabaana be ne mukazi we nʼabakazi ba baana be bawone amataba.
8Era ensolo ennongoofu, nʼensolo ezitali nnongoofu nʼebibuuka mu bbanga na buli ekyewalula,
9ne biyingira bibiri bibiri ekisajja nʼekikazi eri Nuuwa mu lyato, nga Katonda bwe yamulagira.
10Awo olwatuuka oluvannyuma lwʼennaku ziri omusanvu, amataba ne gatandika ku nsi.
11Mu mwaka ogwʼolukaaga ogwʼobulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olwʼekkumi nʼomusanvu olwʼomwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ezʼomu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu nʼebituli byonna ebyʼeggulu.
12Enkuba nʼetonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana nʼekiro.
13Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato.
14Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato.
15Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogwʼobulamu.
16Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja nʼekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Katonda nʼaggalawo eryato.
17Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, nʼeryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi.
18Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, nʼeryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi.
19Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, nʼensozi zonna empanvu wansi wʼeggulu lyonna amazzi ne gazibikka.
20
21Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi nʼensolo ezʼawaka nʼezʼomu nsiko, nʼebitonde byonna ebyali ku nsi nʼabantu bonna.
22Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa.
23
24Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.