1Katonda nʼajjukira Nuuwa nʼensolo zonna ezʼawaka nʼezʼomu nsiko ezaali naye mu lyato, nʼasindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera;
2ensulo eza wansi wʼensi nʼebituli ebyʼeggulu ne biggalibwa, nʼenkuba eva mu ggulu nʼeziyizibwa,
3nʼamazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero ye nnaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde;
4ne mu mwezi ogwʼomusanvu, ku lunaku lwagwo olwʼekkumi nʼomusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati.
5Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogwʼekkumi, ku lunaku olusooka olwʼomwezi ogwo entikko zʼensozi ne zirabika.
6Oluvannyuma lwʼennaku amakumi ana Nuuwa nʼaggula eddirisa lye yakola ku lyato
7nʼatuma namuŋŋoona nʼagenda nga bwʼakomawo okutuusa amazzi lwe gaakalira.
8Oluvannyuma nʼatuma ejjuba ne liva wʼali okulaba ngʼamazzi gakalidde ku nsi;
9naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gyʼali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. Nʼagolola omukono gwe nʼalikwata nʼaliyingiza mu lyato.
10Nʼalinda ennaku endala musanvu nʼatuma ate ejjuba okuva mu lyato;
11ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa nʼategeera nti Amazzi gakendedde ku nsi.
12Ate nʼalinda ennaku endala musanvu, nʼasindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda.
13Ku lunaku olwʼolubereberye, olwʼomwezi ogwʼolubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa nʼaggyako ekibikka ku lyato nʼalaba ngʼensi ekalidde.
14Ku lunaku olwʼamakumi abiri mu omusanvu olwʼomwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde.
15Awo Katonda nʼagamba Nuuwa nti,
16“Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe.
17Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, nʼensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”
18Awo Nuuwa nʼafuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be.
19Ne nsolo nʼebitonde byonna ebitambula ku ttaka, nʼebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.
20Awo Nuuwa nʼazimbira Mukama ekyoto, nʼaddira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu nʼawaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
21Mukama nʼawulira akawoowo akalungi akamusanyusa, nʼayogera mu mutima gwe nti, “Si kyaddayo kukolimira nsi olwʼomuntu, newaakubadde ngʼendowooza yʼomutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Si kyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
22