1Awo Katonda nʼawa Nuuwa ne batabani be omukisa nʼagamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
2Ensolo zonna ezʼomu nsiko, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
3Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.”
4
5Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana nʼomuntu olwʼomusaayi gwʼensolo ne muvunaana nʼolwʼomusaayi gwa muntu munne.
6
7Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
8Awo Katonda nʼagamba Nuuwa ne batabani bwe baali
9nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe,
10era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, nʼensolo ezʼawaka nʼezʼomu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi.
11Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”
12Katonda nʼagamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era nʼabʼemirembe egiriddawo.
13Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero akʼendagaano wakati wange nʼensi.
14“Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire,
15ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu.
16Musoke bwʼanaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
17Katonda nʼagamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero akʼendagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
18Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani.
19Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.
20Nuuwa nʼatandika okulima nʼasimba emizabbibu;
21nʼanywa omwenge nʼatamiira, ne yeebaka mu weema ngʼali bwereere.
22Kaamu kitaawe wa Kanani nʼalaba obwereere bwa kitaawe, nʼabuulirako baganda be ababiri abaali ebweru.
23Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.
24Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa nʼazuukuka nʼategeera mutabani we omuto kyʼamukoze.
25Nʼakolimira ezzadde lya Kaamu nʼagamba nti,
26Era nʼagamba nti,
27
28Oluvannyuma lwʼamataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano.
29Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, nʼafa.