Oluyimba 1:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.

2Leka annywegere nʼemimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga wayini,

3nʼamafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ngʼamafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala.

4Baako ne gyʼontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga wayini.

4Nga batuufu okukwegomba!

5Ndi muddugavu, ndi mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi muli ngʼeweema ezʼe Kedali,[1] era ngʼentimbe za Sulemaani.

6Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu, olwʼokuba omusana gunjokezza. Batabani ba mmange baansunguwalira; ne bandagira okukuuma ennimiro ezʼemizabbibu. Ennimiro yange ngigayaaliridde.

7Ntegeeza ggwe gwe njagala, gyʼoliisiza ekisibo kyo, ne gyʼowumuliza endiga zo mu ssaawa ezʼomu ttuntu. Lwaki mbeera ngʼomukazi eyeebisse amaaso nga nninaanye ebisibo ebyʼabanywanyi bo?

8Bwʼoba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi, goberera ekkubo endiga lye zikutte, ogende oliisize embuzi zo ento, okumpi nʼeweema zʼabasumba.

9Omwagalwa wange, nkugeraageranya nʼembalaasi esika amagaali ga Falaawo.

10Amatama go galabika bulungi ngʼoyambadde ebikomo ebyʼoku matu, nʼensingo yo nerabika bulungi ngʼerimu ebyʼomu bulago ebyʼomuwendo.

11Tunaakukolera ebyʼoku matu ebya zaabu, nga birina amapeesa aga ffeeza.

12Kabaka bwe yali ngʼatudde ku mmeeza ye, akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.

13Muganzi wange ali ngʼensawo eya kaloosa aka mooli[2] gye ndi, ngʼawummulidde mu kifuba kyange.

14Muganzi wange ali ngʼekiganda ekyʼebimuli ebya kofera[3] ebivudde mu nnimiro ezʼemizabbibu ezʼe Engedi.[4]

15Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange oli mubalagavu olabika bulungi. Amaaso go mayiba.

16Olabika bulungi muganzi wange, era onsanyusa. Ekitanda kyaffe kya muddo muto.

17Emikiikiro gyʼennyumba yaffe mivule, nʼenzooba zaffe nkanaga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>