2
3Ngʼomucungwa mu miti egyʼomu kibira, aŋŋanza bwʼali bwʼatyo mu bavubuka. Neesiima okutuula mu kisiikirize kye, nʼekibala kye kimpomera.
4Yantwala ku kijjulo, nʼokwagala kwe ne ku mmaamira.
5Munzizeemu amaanyi nʼezabbibu enkalu, mumbuddeebudde nʼemicungwa kubanga okwagala kunzirisizza.
6Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange, nʼomukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
7Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira, ngʼempeewo nʼenjaza ezʼomu ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kweyagalidde.
7
8Wuliriza omwagalwa wange, Laba, ajja ngʼabuukirabuukira ku nsozi, ngʼazinira ku busozi.
9Omwagalwa wange ali ngʼempeewo oba ennangaazi ento. Laba ayimiridde emabega wʼolukomera lwaffe, Alingiza mu madirisa, alabikira mu mulimu ogulukibwa ogwʼomu ddirisa.
10Omwagalwa wange yaŋŋamba nti, “Golokoka, Owoomukwano, omulungi wange, ojje tugende,
11kubanga laba ttoggo aweddeko, nʼenkuba eweddeyo.
12Ebimuli bimulisizza, nʼebiro ebyʼokuyimba bituuse, era nʼokukaaba kwʼamayiba kuwulirwa mu nsi.
13Omutiini[6] gubala ettiini zaagwo, nʼemizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo. Golokoka Owoomukwano, omulungi wange ojje tugende.”
14Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ezʼomu njazi, mu bwekwekero obwʼamayinja, ndaga amaaso go, ka mpulire eddoboozi lyo, kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo, nʼamaaso go gasanyusa.
15Tukwatire ebibe, obube obutono, obwonoona ennimiro ezʼemizabbibu, kubanga ennimiro zaffe ezʼemizabbibu zimulisizza.