Oluyimba 3:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange, nalindirira emmeeme yange gwʼeyagala, ne munoonya naye saamulaba.

2Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga, mu nguudo ne mu bifo ebigazi; nanoonya emmeeme yange gwʼeyagala, ne nnindirira naye saamulaba.

3Abakuumi bʼekibuga abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti, “Mundabidde ku oyo emmeeme yange gwʼeyagala?”

4Twali twakayisiŋŋanya, ne ndaba oyo emmeeme yange gwʼeyagala. Ne munnywegera ne simuganya kugenda, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, ne mutwala mu kisenge kyʼoyo eyanzaala.

5Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi, ngʼempeewo nʼenjaza ezʼoku ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kwesiimidde.

6Ani oyo ajja ngʼava mu ddungu, afaanana ngʼempagi eyʼomukka, asaabye ebyakaloosa ebya mooli nʼomugavu, okuva mu byʼakaloosa byonna ebyʼomusuubuzi?

7Laba, kye kigaali kya Sulemaani, ekiwerekeddwako abasajja abʼamaanyi nga nkaaga, abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,

8bonna balina ebitala, era bamanyirivu mu kulwana; buli omu nʼekitala kye mu kiwato kye, nga beetegekedde entiisa eyʼekiro.

9Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali ekyʼemiti egyʼomu Lebanooni.

10Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza, ne wansi waakyo nga wa zaabu, nʼentebe yaamu ngʼeriko olugoye lwa ffulungu; ne munda nga mwaliire bulungi nʼokwagala, okwʼabawala ba Yerusaalemi.

11Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mulabe ku Kabaka Sulemaani ngʼayambadde engule, engule nnyina gye yamutikkira ku lunaku olwʼembaga ye, ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>