1Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange; nkuŋŋaanyiza mooli yange nʼebyʼakawoowo byange. Ndidde ebisenge byange ebyʼomubisi gwʼenjuki gwange ne nywa nʼomubisi gwange, Nywedde wayini wange nʼamata gange. Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
2Nnali ngalamidde, ngʼomutima gwange guwulira. Ne mpulira muganzi wange ngʼakonkona, nʼayogera nti, “Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange, owe wange ataliiko bbala, kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, nʼenviiri zange zibisiwadde olwʼobunnyogovu.”
3Nziggyeko ekkooti yange, nnaagyambala ntya nate? Nanaabye ebigere, nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
4Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo, omutima gwange ne gubuukabuuka.
5Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange, emikono gyange nga gitonnya mooli, nʼengalo zange nga zikulukuta mooli, ku minyolo gyʼekufulu.
6Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange ngʼavuddewo, yeetambulidde. Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye. Ne munoonya naye nʼambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
7Abakuumi baansanga bwe baali nga balawuna mu kibuga; baankuba, ne bandeetako ebinuubule, ne batwala nʼekyambalo kyange, abasajja abo abakuuma bbugwe.
8Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ngʼokwagala kwange gyʼali bwe kunzita.
9
10Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu, atabula ne mu bantu omutwalo.
11Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; nʼenviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12Amaaso ge gali ngʼamayiba ku mabbali gʼemigga egyʼamazzi, agaanaazibwa nʼamata, ne gaba ngʼamayinja agʼomuwendo omungi.
13Amatama ge gali ngʼemisiri egyʼobuwoowo, obuleeta akaloosa akalungi. Emimwa gye giri ngʼamalanga agakulukuta mooli.
14Emikono gye giri ngʼemitayimbwa egya zaabu egiteekebwamu amayinja agʼomuwendo. Omubiri gwe guli ngʼamasanga amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15Amagulu ge gali ngʼempagi ezʼamayinja aganyirira ezisimbibwa mu zaabu ennungi. Mu ndabika afaanana Lebanooni omulungi ngʼemivule gyayo.
16Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu nʼebyo byonna ayagalibwa. Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange; mmwe abawala ba Yerusaalemi.