1Muganzi wo alaze wa, ggwe akira abakyala bonna obulungi? Muganzi wo yakutte lya wa tumukunoonyezeeko?
2Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu misiri egyʼebirime ebyakaloosa, okulabirira ennimiro ye nʼokunoga amalanga.
3Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe; anoonyeza mu malanga.
3
4Oli mubalagavu nga Tiruza,[11] omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi, era owʼekitiibwa ngʼeggye eririna ebendera.
5Tontunuulira nnyo kubanga amaaso go gantawanya. Enviiri zo ziri ngʼekisibo ekyʼembuzi, eziserengeta okuva e Gireyaadi.
6Amannyo go gali ngʼekisibo ekyʼendiga eziva okunaazibwa; buli emu nnongo eri nʼennongo ginnaayo, so tewali eri yokka.
7Obwenyi bwo bwʼobisse mu lugoye, buli ngʼebitundu byʼamakomamawanga.
8Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga, nʼabazaana kinaana, nʼabawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
9ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, owʼenjawulo, mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina okusinga abalala, yʼansingira mu bonna. Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa; bakabaka abakazi nʼabazaana baamutenda.
9
10Ani ono alabika ngʼemmambya, omulungi ngʼomwezi, atangalijja ngʼenjuba, alina ekitiibwa ngʼekyʼemunnyeenye?
10
11Naserengeta mu nnimiro eyʼemiti egyʼensigo okwetegereza okumulisa okwʼebimera ebyʼomu kiwonvu, okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa, nʼokulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
12Bwe nnali nkyali awo emmeeme yange nʼegenda eri amagaali agʼobwakabaka agʼomu bantu bange.
12
13Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu; komawo, komawo tukutunuleko.
13Lwaki mutunuulira Omusulamu ngʼabali ku mazina ga Makanayimu?