1Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto, ggwe omumbejja! Amagulu go gali ngʼamayinja agʼomuwendo, omulimu gwʼomuweesi omukalabakalaba.
2Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu, ekitaggwaamu wayini omutabule obulungi. Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano eyeetooloddwa amalanga.
3Amabeere go gali ngʼabaana bʼempeewo, abalongo.
4Ensingo yo eri ngʼomunaala ogwʼamasanga. Amaaso go gali ngʼebidiba ebyʼomu Kesuboni ebiri ku mulyango ogwʼe Basulabbimu. Ennyindo yo eri ngʼomulongooti ogwʼe Lebanooni ogwolekera Ddamasiko.
5Omutwe gwo gukuwoomera ngʼolusozi Kalumeeri, nʼenviiri zo ziranga emiguwa egyʼeffulungu; Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.
6Ngʼolabika bulungi, ngʼosanyusa ggwe omwagalwa nʼobulungi bwo.
7Oli muwanvu ngʼolukindu, nʼamabeere go gali ngʼebirimba ebyʼebibala byakwo.
8Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu, era ndikwata ebibala byalwo.” Amabeere go gabeere ngʼebirimba ebyʼoku muzabbibu, nʼakawoowo akʼomu kamwa ko ngʼebibala ebyʼomucungwa
9nʼakamwa ko nga wayini asinga obulungi.
9Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange, ngʼakulukuta mpolampola ku mimwa gyʼabo abeebase.
10Ndi wa muganzi wange, era naye anjagala nnyo.
11Jjangu, muganzi wange tugende ebweru wʼekibuga, tusuleko mu byalo.
12Tukeere tugende mu nnimiro zʼemizabbibu, tulabe obanga emizabbibu gimulisizza, obanga nʼebimuli byagwo byanjuluzza, obanga nʼemikomamawanga gimulisizza, era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
13Amadudayimu[12] gawunya akawoowo, ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi, Ebyakanogebwa awamu nʼebikadde, bye nkuterekedde muganzi wange.