1Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange era eyayonka amabeere ga mmange, nandikusanze ebweru nandikunywegedde ne wataba nʼomu annyooma.
2Nandikukulembedde ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange, oyo eyangigiriza. Nandikuwadde wayini okunywa ngʼalimu ebyakaloosa, omubisi ogwʼamakomamawanga gange.
3Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange nʼomukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
4Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira, temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa ngʼekiseera ekituufu kituuse.
4
5Ani oyo gwe tulengera ngʼava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we?
5Nakuzuukusa ngʼoli wansi wʼomuti ogwʼomucungwa. Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
6Nteeka ngʼakabonero ku mutima gwo, era ngʼakabonero ku mukono gwo, kubanga okwagala kwa maanyi ngʼokufa, obuggya bwakwo buli ngʼobusungu obwʼemagombe. Kwaka ngʼennimi ezʼomuliro, omuliro ogwaka nʼamaanyi ennyo.
7Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala nʼemigga tegiyinza kukumalawo. Singa omuntu awaayo obugagga bwe bwonna obwʼennyumba ye okufuna okwagala, asekererwa nnyo.
7
8Tulina muto waffe atannamera mabeere, naye tulikola tutya bwʼalituuka okwogerezebwa?
9Singa abadde bbugwe twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza, singa abadde luggi twandimuggalidde na mivule.
9
10Ndi bbugwe era nʼamabeere gange gali ngʼekitikkiro, noolwekyo mu maaso ge, mmufuukidde aleeta emirembe.
11Sulemaani yalina ennimiro yʼemizabbibu e Baaluka Kamooni, nʼagisigira abalimi. Buli omu ku bo yamusalira ebitundu bya ffeeza lukumi.
12Ennimiro yange eyʼemizabbibu, yange, ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani, ebitundu ebikumi bibiri byʼabo abalabirira ennimiro.
12
13Ggwe abeera mu nnimiro ne mikwano gyo nga weebali, kampulire eddoboozi lyo.
13
14Yanguwa okuvaayo eyo, odduke mangu ngʼempeewo oba ngʼennangaazi ento, oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.