1Siganga emmere yo ngʼenkuba etonnya, kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
2Gabiranga musanvu weewaawo munaana, kubanga mu biseera ebyʼoluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
3Ebire bwe bijjula amazzi, bitonnyesa enkuba ku nsi; nʼomuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono, mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
4Oyo alabirira embuyaga talisiga; nʼoyo atunuulira ebire talikungula.
5Nga bwʼotosobola kutegeera kkubo mpewo, oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto; bwʼotyo bwʼotosobola kutegeera Katonda Omutonzi wa byonna byʼakola.
6Ku makya siga ensigo zo, nʼakawungeezi toddiriza mukono gwo; kubanga tomanyi eziryala, zino oba ziri, oba zombi ziriba nnungi.
7Ekitangaala kirungi, era okulaba ku musana kisanyusa.
8Kale omuntu bwʼawangaala emyaka emingi, agisanyukirengamu gyonna, naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ezʼekizikiza nnyingi ezijja. Ebyo byonna ebijja butaliimu.
9Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo, nʼomutima gwo gusanyukenga mu nnaku ezʼobuvubuka bwo; tambulira mu makubo gʼomutima gwo ne mu kulaba kwʼamaaso go. Naye manya nga mu byonna, Katonda agenda kukusalira omusango.
10Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima era weggyeko emitawaana mu ggwe, kubanga obuvubuka nʼamaanyi gaabwe butaliimu.