Omubuulizi 12:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ezʼobuvubuka bwo, ngʼennaku embi tezinnakutuukako nʼemyaka nga teginnasembera, mwʼolyogerera nti Sizisanyukira;

2ngʼenjuba nʼobutangaavu, omwezi nʼemmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza; nga nʼebire biweddemu enkuba;

3abakuumi bʼenju mwe balikankanira, nʼabasajja abʼamaanyi mwe bakutamizibwa, nga nʼabo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono, nʼabo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;

4nga nʼenzigi ezʼolekedde enguudo zigaddwawo, nʼeddoboozi lyʼokusa nga livumbedde; ngʼabasajja bagolokoka olwʼeddoboozi lyʼennyonyi, naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;

5nga batya buli kiwanvu nʼakabi akali mu nguudo, ngʼomubira gumulisizza, ngʼenseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri. Omuntu nʼagenda mu nnyumba ye gyʼalimala ekiseera ekiwanvu nʼabakungubazi ne babuna enguudo.

6Jjukira omutonzi wo ngʼomuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika, ngʼensuwa tennayatikira ku luzzi obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,

7ngʼenfuufu edda mu ttaka mwe yava, nʼomwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.

8Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bwʼagamba, “Buli kintu butaliimu.”

9Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza nʼabantu ebyʼamagezi. Yalowooza nʼanoonyereza nʼayiiyaayo engero nnyingi.

10Omubuulizi yanoonyereza nʼafuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.

11Ebigambo byʼabantu abagezi biri ngʼemiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ngʼemisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo.

12Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako.

12Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, nʼokuyiga okungi kukooya omubiri.

13Kale byonna biwuliddwa; eno yʼenkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu kyʼagwanira okukola.

14Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa; ekyo ekyakwekebwa, nga kirungi oba nga kibi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>