1Nayogera munda yange nti Jjangu kaakano ngezese okusanyuka: Weesanyuse. Naye laba, na kino kyali butaliimu.
2Nagamba nti Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?
3Nanoonyereza nʼomutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange nʼomwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi wʼenjuba mu nnaku ezʼobulamu bwabwe entono.
4Natandikawo emirimu egyʼamaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ezʼemizabbibu.
5Ne neerimira ennimiro, ne neekolera nʼebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egyʼebibala.
6Ne neesimira ebidiba omuva amazzi agʼokufukirira ebibira byʼemiti emito.
7Neefunira abaddu abasajja nʼabakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera nʼamagana gʼente nʼebisibo byʼendiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi.
8Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka nʼegyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja nʼabakazi, ne nfuna nʼebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira nʼabakazi.
9Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.
10
11
12
13
14
15Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,
16
17Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi wʼenjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
18Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi wʼenjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere.
19Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye yʼaliba mukama wʼebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi wʼenjuba; era na kino nakyo butaliimu.
20Awo ne nterebuka olwʼokutegana kwange kwonna wansi wʼenjuba.
21Kubanga oluusi omuntu ategana ngʼakozesa amagezi ge nʼokumanya awamu nʼobukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere.
22Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna nʼokukaluubirirwa mu ebyo byʼateganamu wansi wʼenjuba?
23Kubanga ennaku ze zonna nʼokutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.
24Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo byʼakola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda,
25kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka?
26Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi nʼokumanya nʼessanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gwʼokukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.