1
2
3
4
5
6
7
8
9Ddala omuntu kiki kyʼafuna mu kutegana kwe?
10Ndabye omugugu Katonda gwʼatadde ku bantu.
11Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gyʼabantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma.
12Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu.
13Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olwʼebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda.
14Mmanyi nga buli Katonda kyʼakola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bwʼatyo, abantu balyoke bamutye.
15
16Ate era nalaba nga wansi wʼenjuba,
17Ne njogera munda yange nti
18Ne ndowooza nti Katonda agezesa abaana bʼabantu era bajjukire nti nsolo busolo.
19Kubanga ekituuka ku baana bʼabantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, nʼensolo nʼefa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu.
20Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda.
21Ani amanyi obanga omwoyo gwʼomuntu gwambuka waggulu, ogwʼensolo gwo ne gukka mu ttaka?
22Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.