1Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi wʼenjuba. Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa, era nga tebalina wakugabasangulako! Ababanyigiriza baalina obuyinza, kyokka nga tewali asobola kubagambako.
2Ne ndowooza ku abo abaafa, nga baali ba mukisa okusinga abo abakyali abalamu;
3naye abasinga abo, yʼoyo atannaba kuzaalibwa, atannalaba bibi obukolebwa wansi wʼenjuba.
4Awo ne ndaba ngʼokutegana, nʼokutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.
5Omusirusiru awumba emikono gye, ne yeezikiriza yekka.
6Kirungi okuba nʼemirembe emijjuvu okusinga okujjula okubonaabona nʼokugoberera empewo.
7Ate era ne ndaba obutaliimu wansi wʼenjuba:
8nalaba omuntu ngʼali bwannamunigina, nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ngʼategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe, ne yeebuuza nti “Nteganira ani ne neefiiriza essanyu? Kino nakyo butaliimu, era tekiriiko kye kigasa.”
9Ababiri basinga omu, kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
10Kubanga singa omu agwa, munne amuyimusa. Naye zimusanze oyo ali obwʼomu, bwʼagwa tabaako amuyimusa.
11Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma; naye oyo ali obwʼomu, ayinza atya okubuguma?
12Omu awangulwa mangu, kyokka ababiri bayinza okwerwanako. Kubanga omuguwa ogwʼemiyondo esatu tegukutuka mangu.
13Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa.
14Omuvubuka ayinza okuba ngʼavudde mu kkomera nʼalya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ngʼabadde mwavu.
15Nalaba abalamu bonna abatambula wansi wʼenjuba nga bagoberera omuvubuka oyo owʼokulya obwakabaka.
16Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.