Omubuulizi 5:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Weekuume ngʼoyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera nʼokumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ngʼezʼabasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

2Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo, wadde omutima gwo ogwanguyiriza, okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda. Katonda ali mu ggulu ngʼate ggwe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.

3Ngʼokutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto, nʼebigambo byʼomusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.

4Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo.

5Obuteyama kisinga okweyama nʼototuukiriza kye weeyamye.

6Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, nʼogamba oyo atumiddwa gyʼoli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olwʼebigambo byo, nʼazikiriza emirimu gyʼemikono gyo?

7Ebirooto entoko nʼebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.

8Bwʼolabanga ngʼomwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima nʼobwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala.

9Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mwʼafuna.

10Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala; wadde oyo alulunkanira obugagga nʼamagoba: na kino nakyo butaliimu.

11Ebintu nga bwe byeyongera obungi, nʼababirya gye bakoma okweyongera. Kale nnyini byo agasibwaki, okuggyako okusanyusa amaaso ge?

12Otulo tuwoomera omupakasi ne bwʼaba agabana bitono oba bingi. Naye obugagga bwʼomugagga obuyitiridde, tebumuganya kwebaka.

13Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi wʼenjuba: nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,

14ebyembi bwʼebigwawo ebyʼobugagga ebyo bibula, kale bwʼaba ne mutabani tewabaawo mutabani we kyʼasigaza.

15Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina nʼajja mu nsi nga talina kintu, bwʼatyo bwʼaliddayo nga mwereere ngʼava mu nsi. Tewali kyʼaggya mu mirimu gye, wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.

16Na kino kya bulumi bwereere: nga bwe yajja era bwʼatyo bwʼaligenda; mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?

17Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike, ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.

18Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya nʼokunywa nʼokulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi wʼenjuba, mu nnaku ze entono Katonda zʼamuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe.

19Ate Katonda bwʼawa omuntu obugagga, nʼebintu nʼamusobozesa okubyeyagaliramu, nʼokutegeera omugabo gwe nʼokusanyukira byʼakoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.

20Emirundi giba mitono gyʼalowoolezaamu ekiseera kyʼobulamu kyʼamaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gwʼomuntu oyo essanyu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>