1Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi wʼenjuba era kibuutikidde abantu.
2Katonda awa omuntu obugagga, nʼamuwa ebintu ebingi awamu nʼekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga nʼakifuna; naye Katonda nʼamumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira nʼajja nʼabisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
3Omuntu ayinza okuba nʼabaana kikumi, nʼawangaala; bwʼatasanyukira mu bugagga bwe, era nʼataziikwa mu kitiibwa, ne bwʼaba ngʼawangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ngʼagenda okuzaalibwa amusingira wala.
4Omwana oyo ajja nga taliiko kyʼamanyi nʼagendera mu butamanya era nʼerinnya lye ne libulira mu butamanya.
5Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako kyʼamanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo:
6omusajja oyo ne bwʼawangaala emyaka enkumi bbiri, naye nʼatasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
7
8
9
10
11
12Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono zʼamala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ngʼekisiikirize? Ani wansi wʼenjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ngʼavudde mu bulamu buno?