1 Obwatiikirivu bwʼerinnya eddungi businga ebyʼakawoowo ebirungi; nʼolunaku olwʼokufa lusinga olwo olwʼokuzaalirwako.
2 Kirungi okulaga mu nnyumba eyʼabakungubaga okusinga okulaga mu nnyumba eyʼebyassava. Kubanga buli omu wa kufa, ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
3 Okunakuwala kusinga okuseka, kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
4 Omutima gwʼomugezi guba wamu nʼabo abali mu nnaku; naye ogwʼomusirusiru guba mu kusanyuka.
5 Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kwʼomuntu owʼamagezi okusinga okuwuliriza ennyimba zʼabasirusiru.
6 Okuseka kwʼabasirusiru kuli ngʼokutulikatulika kwʼamaggwa agali mu muliro gwʼentamu[1] ; na kino nakyo butaliimu.
7 Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula owʼamagezi okuba omusirusiru, nʼenguzi efaafaaganya okutegeera.
8 Enkomerero yʼekintu esinga entandikwa yaakyo, nʼomugumiikiriza asinga owʼamalala.
9 Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka, kubanga obusungu bubeera munda yʼabasirusiru.
10 Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ezʼedda zisinga zino?” Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ngʼekyo.
11 Amagezi kintu kirungi, okufaanana ngʼekyʼobugagga kyʼobusika, era kigasa abo abʼakyalaba enjuba.
12 Amagezi kiwummulo, ngʼensimbi bwe ziri ekiwummulo, naye enkizo yʼokumanya yʼeno: amagezi gakuuma obulamu bwʼoyo agalina.
13 Lowooza ku Katonda kyʼakoze: ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
14 Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka; naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko; Katonda eyakola ekimu era ye yakola ne kinnaakyo. Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako mu nnaku ze ezʼomu maaso.
15 Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi: omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe, nʼomukozi wʼebibi nʼawangaalira mu bibi bye.
16 Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde wadde okwefuula owʼamagezi owʼekitalo; oleme okwezikiriza.
17 Tobanga mwonoonyi kakuzzi wadde okuba omusirusiru; oleme okufa ngʼekiseera kyo tekinnatuuka.
18 Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso, kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.
19 Owʼamagezi ne bwʼaba omu mu kibuga, aba wʼamaanyi okusinga abakulembeze ekkumi abʼomu kibuga ekyo.
20 Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu, atakola bibi.
21 Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera, si kulwa ngʼowulira omuweereza wo ngʼakukolimira,
22 kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo, ngʼemirundi mingi okolimidde abalala.
23 Ebyo byonna nabyekenneenya nʼamagezi ne ŋŋamba nti, “Mmaliridde okuba omugezi,” wabula kino kyandi wala.
24 Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka, kale ani ayinza okugavumbula?
25 Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera, nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri, nʼokutegeera obusirusiru bwʼokukola ebibi: nʼeddalu eryʼobusirusiru.
26 Ekintu kye nalaba ekyʼobulabe ekisinga okufa, ye mukazi alina omutima ogusendasenda, era ogusikiriza, era emikono gye gisiba ngʼenjegere. Oyo ayagala Katonda, yʼawona omukazi oyo, kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
27 Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde: okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola yʼebintu,
28 bwe nnali nga nkyanoonyereza nabulako kye nzuula, okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi, kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu nʼomu atuukiridde.
29 Wabula kino kyokka kye nalaba: Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu, naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.