Omubuulizi 8:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Ani afaanana omuntu omugezi amanyi okunnyonnyola buli kintu? Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bwʼomuntu, ne gakyusa emitaafu gyamu.

2Nkugamba nti Gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira[2] mu maaso ga Katonda.

3Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bwʼebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli kyʼayagala.

4Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okolaki ekyo?”

5Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi, omutima ogwʼamagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, nʼengeri eyʼokukolamu ekintu ekyo.

6Kubanga waliwo ekiseera ekituufu nʼenkola esaana ku buli kintu, newaakubadde ngʼobuyinike bwʼomuntu bumuzitoowerera okukamala.

7Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo, kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?

8Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo; bwe kityo tewali nʼomu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe. Ngʼomuntu bwʼaweebwa ebiragiro mu biseera ebyʼolutalo, bwe kityo nʼobutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.

9Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi wʼenjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lwʼabinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka.

10Ndabye abantu abakozi bʼebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.

11Omuntu bwʼasalirwa omusango nʼatabonererezebwawo, emitima gyʼababi gijjula kuteekateeka kukola bubi.

12Newaakubadde ngʼomuntu omubi azza emisango kikumi, ate nʼawangaala, nkimanyi ngʼabatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi.

13Naye olwokubanga abakozi bʼebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era nʼennaku zaabwe zinaayitanga mangu ngʼekisiikirize.

14Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu.

15Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi wʼenjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya nʼokunywa nʼokweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ezʼobulamu bwe Katonda bwʼamuwadde wansi wʼenjuba.

16Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kwʼomuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana nʼekiro.

17Ne ndaba ebyo byonna Katonda byʼakoze, nga tewali nʼomu ayinza kutegeera Katonda byʼakola wansi wʼenjuba, omuntu ne bwʼagezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>