Omubuulizi 9:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ngʼomutuukirivu nʼomugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu nʼomu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde.

2Omutuukirivu nʼomwonoonyi, omulungi nʼomubi, omuyonjo nʼomujama, abo abawaayo ssaddaaka nʼabo abatagiwaayo bonna gye bagenda yʼemu.

2Nga bwe kiri eri omuntu omulungi, era bwe kiri nʼeri omwonoonyi; Nga bwe kiri eri abo abalayira, era bwe kiri nʼeri abo abatya okulayira.

3Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi wʼenjuba. Ate emitima gyʼabantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; nʼoluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe.

4Naye omuntu omulamu aba nʼessuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!

5Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi: tebakyagasa wadde okujjukirwa.

6Okwagala kwabwe, nʼobukyayi bwabwe, nʼobuggya bwabwe nga bizikiridde; nga tebakyetaba mu ebyo byonna ebikolebwa wansi wʼenjuba.

7Genda olye emmere yo ngʼosanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye kyʼokola.

8Yambalanga engoye ennyonjo[3], era weesiigenga nʼebyakaloosa.

9Ssanyukanga ne mukyala wo gwʼoyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bwʼakuwadde wansi wʼenjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kwʼoteganamu wansi wʼenjuba.

10Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole nʼamaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gyʼolaga.

11Ate nalaba nga wansi wʼenjuba, ngʼowʼembiro ennyingi si yʼawangula mu mpaka, era ne kirimaanyi si yʼawangula olutalo, ngʼate bakalimagezi bonna si be baatiikirira; wabula ngʼomukisa gukwata bukwasi oyo aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.

12Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako. Ngʼekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo, oba ennyonyi nga bwʼegwa ku mutego, nʼabaana bʼomuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera ebya kabi, ebibatuukako nga tebabyetegekedde.

13Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino:

14waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka owʼamaanyi nʼajja nʼakazingiza nʼakazimbako ekigo ekinene.

15Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ngʼamanyi ekyʼokukola okuwonya akabuga ako, bwʼatyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira.

16Awo ne ndaba nti newaakubadde ngʼamagezi gasinga amaanyi, naye owʼamagezi bwʼaba omwavu, anyoomebwa, ne kyʼayogera tekissibwako mwoyo.

17Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo ebyʼekimpowooze ebiva mu kamwa kʼomugezi bissibwako omwoyo, okusinga okuleekaana kwʼomufuzi wʼabasirusiru.

18Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo, naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>