1Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo ngʼokukkiriza kwʼabalonde ba Katonda bwe kuli nʼokutegeera amazima agali mu kutya Katonda,
2ebyesigamye ku kusuubira okwʼobulamu obutaggwaawo, Katonda owʼamazima kwe yasuubiza ngʼebiro ebyʼemirembe nʼemirembe tebinnabaawo,
3naye mu ntuuko zaabyo, yayolesa ekigambo kye mu kubuulira Enjiri, kwe nateresebwa ngʼekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri,
4eri Tito omwana wange ddala ngʼokukkiriza kwaffe ffenna okwa awamu bwe kuli, nʼekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu omulokozi waffe.
5Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo nʼabakadde
6Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga nʼabaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu.
7Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ngʼomuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa
8naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ngʼamanyi okwefuga.
9Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, nʼokulaga obukyamu bwʼabo abagiwakanya.
10Kubanga waliwo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, nʼokusingira ddala abo abʼomu bakomole.
11Basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitabagwanidde, balyoke beefunire amagoba agʼobukuusa.
12Omu ku bo, nnabbi waabwe bo kyeyava agamba nti:
13Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya nʼamaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu,
14balekeraawo okuwuliriza enfumo ezʼEkiyudaaya, nʼebiragiro abantu abakyama okuva ku mazima bye bagunja.
15Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu nʼabatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe nʼebirowoozo byabwe byayonooneka.
16Bagamba nti Bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi nʼakatono.