1Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu.
2Kubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala nʼokugumiikiriza.
3Abakazi abakulu nabo bakubirize bwʼotyo babe nʼempisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi,
4balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga babbaabwe awamu nʼabaana baabwe.
5Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.
6Nʼabavubuka bakubirizenga babe beegendereza,
7mu bintu byonna, ngʼobeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna byʼokola, ngʼoli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo.
8Buli kyʼoyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.
9Era kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe era babagonderenga mu byonna, nga tebabawakanya,
10wadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.
11Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise,
12era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, nʼokwegomba kwʼensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano;
13nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, nʼokulabika kwʼekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
14eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga eryʼenvuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
15Ebyo byʼobanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga nʼobuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.