Tito 3:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi nʼabʼobuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi.

2Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.

3Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, nʼamasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era abʼobuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana.

4Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe nʼokwagala kwe bwe byalabika,

5nʼatulokola, si lwa bikolwa ebyʼomu butuukirivu bye twakola, wabula olwʼokusaasira kwe mu kunaazibwa okwʼokuzaalibwa okwʼomulundi ogwokubiri nʼokufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu,

6gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe.

7Bwe tulimala okutukuzibwa olwʼekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo.

8Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.

9Naye weewalenga empaka ezʼobusirusiru, nʼokukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bwʼabantu, nʼennyombo, nʼentalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa.

10Omuntu ayawulayawula mu bantu bwʼomalanga okumulabula omulundi ogusooka, era nʼogwokubiri, omwewalanga,

11kubanga omuntu ngʼoyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.

12Bwe nkutumiranga Atema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera ebyʼobutiti.

13Fuba okusibirira Zeena munnamateeka ne Apolo obatume babe nga tebaliiko kye beetaaga.

14Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.

15Bonna abali nange bakulamusizza. Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>