Yakobo 1:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Nze Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, mpandiikira ebika ekkumi nʼebibiri ebyasaasaana, nga mbalamusa.

2Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu

3nga mumanyi ngʼokugezesebwa kwʼokukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.

4Omulimu gwʼokugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako.

5Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

6Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ngʼejjengo eryʼoku nnyanja erisundibwa empewo.

7Omuntu ngʼoyo bwʼatasaba na kukkiriza tasuubira Mukama kumuwaayo kintu kyonna.

8Kubanga omuntu owʼemyoyo ebiri, buli gyʼadda tanywererayo.

9Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa.

10Nʼomugagga tasaana anyiige ngʼebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ngʼekimuli ekyʼomuddo bwe kiggweerera.

11Kubanga enjuba bwʼevaayo nʼeyaka nʼebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala nʼekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, nʼobulungi bwʼendabika yaakyo ne buggwaawo; nʼomugagga bwʼatyo bwʼaliggwaawo, ngʼali mu mirimu gye.

12Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bwʼalimala okusiimibwa aliweebwa engule eyʼobulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

13Omuntu yenna bwʼakemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu nʼomu.

14Naye buli muntu akemebwa ngʼokwegomba kwe okubi, bwe kuli, nʼasendebwasendebwa.

15Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, nʼekibi bwe kikula ne kizaala okufa.

16Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.

17Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda ebyʼomu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.

18Yalondawo ku bubwe yekka okutuzaala, ngʼayita mu kigambo ekyʼamazima, tulyoke tubeere ngʼabaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya.

19Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.

20Kubanga obusungu bwʼomuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda.

21Kale mulekenga emize gyonna, nʼekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize nʼobuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.

22Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba.

23Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye nʼatakigondera, afaanana ngʼomuntu eyeeraba mu ndabirwamu;

24bwʼava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bwʼafaananye.

25Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, nʼalinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli kyʼakola.

26Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye nʼatafuga lulimi lwe, aba yeerimba, nʼeddiini ye teriiko kyʼegasa.

27Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, yʼeyo eyʼomuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gyʼalimu ereme kumuletako bbala.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.