1Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama owʼekitiibwa, temusosolanga mu bantu.
2Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ngʼayambadde engoye ezʼomuwendo omunene, ngʼanaanise nʼempeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo nʼomusajja omwavu ngʼali mu ngoye ezisensusesensuse,
3ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti Ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi wʼakatebe kwe nteeka ebigere byange,”
4kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?
5Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi bʼeyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika abʼobwakabaka obwʼomu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala?
6Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga zʼamateeka?
7Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?
8Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti,
9Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, nʼetteeka libasingisa omusango ngʼaboonoonyi.
10Era omuntu akwata amateeka gonna, naye nʼasobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri yʼemu ngʼoli asobezza amateeka gonna.
11Kubanga Katonda eyagamba nti,
12Noolwekyo mwogere era mukole ngʼamateeka agʼeddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa.
13Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.
14Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti Mulina okukkiriza kyokka ngʼokukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ngʼokukkiriza ngʼokwo kugenda kubalokola?
15Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya,
16naye omu ku mmwe nʼamugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki?
17Noolwekyo nʼokukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.
18Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.”
19Okukkiriza obukkiriza nti Waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza nʼokukankana ne bakankana!
20Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ngʼokukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa?
21Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olwʼekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto?
22Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olwʼebikolwa bye,
23
24Kaakano mutegedde ngʼomuntu asiimibwa Katonda olwʼebyo byʼakola, so si lwa kukkiriza kyokka.
25Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa ekyʼokusembeza ababaka, nʼoluvannyuma nʼabasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya?
26Ngʼomubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, nʼokukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.