1Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala.
2Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
3Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olwʼebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo.
4Era nʼenkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo nʼekiraza omugoba waakyo gyʼayagala, newaakubadde ngʼempewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi.
5Nʼolulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya.
6Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala ebyʼomubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gwʼomuntu gwonna ne gwaka ngʼoluyiira okumutuusa mu kuzikirira.
7Abantu, ebisolo ebya buli ngeri nʼennyonyi, nʼebyekulula, era nʼebyʼomu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga,
8naye tewali muntu nʼomu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.
9Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
10Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza nʼokukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo!
11Ensulo yʼemu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera nʼagakaawa?
12Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bwʼetyo nʼensulo yʼemu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.
13Ani alina amagezi nʼokutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ngʼakola ebikolwa ebyʼobwetoowaze ebyʼamagezi.
14Bwe muba nʼomutima omukyayi ogujjudde nʼobuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana nʼamazima.
15Kubanga amagezi ngʼago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani.
16Kubanga buli awabeera obuggya nʼokwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era nʼebikolwa ebirala ebibi byonna.
17Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira nʼebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.
18Era ekibala ekyʼobutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.