Yakobo 4:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Kiki ekireeta entalo nʼokulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala?

2Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba nʼobuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba.

3Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

4Mmwe abenzi temumanyi ngʼokuba mikwano gyʼensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bwʼalondawo okuba mukwano gwʼensi afuuka mulabe wa Katonda.

5Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira nʼokwagala okujjudde obuggya”?

6Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

6 “Katonda alwana nʼabʼamalala naye abawombeefu abawa ekisa.”

7Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.

8Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi bʼebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.

9Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, nʼessanyu lifuuke okunakuwala.

10Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

11Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme okwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bwʼosalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango.

12Oyo yekka eyateeka amateeka yʼasala omusango. Era yʼasalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?

13Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.”

14Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ngʼolufu olulabika ate mangwago ne lubula.

15Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bwʼanaaba ngʼasiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.”

16Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olwʼentegeka zammwe, songa okwekuluntaza okwʼengeri eyo tekusanyusa Katonda.

17Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.