1Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku.
2Ebyʼobugagga byammwe bivunze, nʼebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje.
3Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwa byo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ngʼomuliro. Mweterekera obugagga olwʼennaku ezʼoluvannyuma.
4Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, nʼabaakungula bakungubaga, era amaloboozi gʼokwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama owʼEggye.
5Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ngʼabeetegekera olunaku olwʼokubaagirako ebyassava.
6Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ngʼate ye talina bwe yeerwanirako.
7Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ngʼomulimi bwʼagumiikiriza ngʼalindirira enkuba eya ddumbi nʼeya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere.
8Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi.
9Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.
10Ekyokulabirako ekyʼokugumiikiriza nʼokubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.
11Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ngʼentegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
12Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bwʼebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bwʼebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.
13Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olwʼobuzibu obwo. Nʼabo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ezʼokumutendereza.
14Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze bʼEkkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye.
15Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo nʼokukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa.
16Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba nʼomutima omumalirivu ogwʼomuntu omutuukirivu, kubeera nʼobuyinza bungi, era nʼebivaamu biba bya ttendo.
17Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo nʼasaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu nʼekitundu!
18Ate nʼasaba enkuba nʼetonnya, omuddo nʼebisimbe byonna ne biddamu okumera.
19Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama nʼava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo,
20omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ngʼamuleetedde nʼokusonyiyibwa ebibi byonna.