1Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, owʼoku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini.
2
3
4Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ngʼagamba nti,
5
6Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.”
7Naye Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gyʼonoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga byʼonooyogeranga.
8Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bwʼayogera Mukama Katonda.
9Awo Mukama Katonda nʼagolola omukono gwe, nʼakwata ku mimwa gyange, nʼaŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo byʼonooyogeranga.
10Leero nkutaddewo okuba nʼobuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula nʼokumenya, okuzikiriza nʼokuwamba; okuzimba nʼokusimba.”
11Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo kyʼolaba?”
12Awo Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ngʼekigambo kyange kituukirira.”
13Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki kyʼolaba, kaakano?”
14Awo Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga.
15Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna abʼomu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bwʼayogera Mukama Katonda.
16
17“Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bwʼonoobatya nzija kubakutiisa.
18Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ezʼamaanyi, era empagi eyʼekyuma, era bbugwe owʼekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona nʼabantu abʼomu nsi.
19Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bwʼayogera Mukama Katonda.