Yeremiya 10:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Muwulire ekigambo Katonda kyʼabagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri.

2Bwʼati bwʼayogera Mukama nti,

2“Temugobereranga makubo gʼamawanga oba okweraliikirira obubonero obwʼoku ku ggulu, kubanga amawanga ge byeraliikirira.

3Kubanga empisa ezʼamawanga tezigasa; batema omuti mu kibira, omubazzi nʼaguyooyoota nʼebyuma bye.

4Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu, bagukomerera nʼenninga nʼennyondo guleme okunyeenyanyeenya.”

4

5 Bakatonda bafaanana nga ssemufu mu nnimiro yʼebibala, era tebasobola kwogera kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula. Tobatya, tebayinza kukukola kabi konna, wadde okukola akalungi nʼakamu.”

6Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda. Oli mukulu, era erinnya lyo lyʼamaanyi nnyo.

7 Ani ataakutye, Ayi Kabaka wʼamawanga? Kubanga kino kye kikugwanira. Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga ne mu bwakabaka bwabwe bwonna tewali ali nga ggwe.

8Bonna tebalina magezi basirusiru, abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.

9Ffeeza eyaweesebwa eyʼempewere eggyibwa e Talusiisi, ne zaabu eva e Yufazi, ffundi nʼomuweesi wa zaabu bye bakoze byambazibwa engoye eza kaniki ne zʼeffulungu. Gino gyonna mirimu gyʼabasajja abakalabakalaba.

10Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu, era Kabaka owʼemirembe gyonna. Bwʼasunguwala, ensi ekankana, amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

11 “Bwʼoti bwʼoba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi wʼeggulu.’ ”

12Mukama yakola ensi nʼamaanyi ge, nʼatonda ebitonde byonna nʼamagezi ge, era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.

13Bwʼafulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma, asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero yʼensi. Amyansisa eggulu mu nkuba, era nʼaggya empewo mu mawanika ge.

14Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera; buli muweesi wa zaabu aswala olwʼekifaananyi kyʼakoze. Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba, era tebiriimu bulamu.

15Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.

16Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ngʼebyo, ye Mutonzi wʼebintu byonna, era owa Isirayiri, eggwanga eryʼomugabo gwe, Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye.

17Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi, mmwe abazingiziddwa.

18Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Laba nfuumuula abantu mbaggye mu nsi eno, era ndibaleetako ennaku balyoke bawambibwe.”

18

19Zinsanze nze olwʼekiwundu kyange ekinnuma ennyo. Naye ate ne ŋŋamba nti, “Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”

20Eweema yange eyonooneddwa, era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali. Tewali nʼomu asigaddewo kaakano kuzimba weema yange wadde okuzimba ekigango kyange.

21Kubanga abasumba bafuuse ngʼensolo tebakyebuuza ku Mukama. Noolwekyo tebakulaakulana era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.

22Wuliriza! Amawulire gatuuse, waliwo akeegugungo akʼamaanyi okuva mu nsi eyʼomu bukiikakkono, kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo byʼebibe.

23Mmanyi Ayi Mukama Katonda ngʼobulamu bwʼomuntu si bubwe, omuntu si yʼaluŋŋamya amakubo ge.

24Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde, si mu busungu bwo, si kulwa ngʼonfuula ekitaliimu.

25 Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, agatakutwala ngʼekikulu, ku bantu abatakoowoola linnya lyo. Kubanga bamazeewo Yakobo, bamuliiridde ddala era ne boonoona ensi ye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>