Yeremiya 11:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya.

2Wuliriza ebigambo byʼendagaano eno era yogera nʼabantu ba Yuda era nʼabo ababeera mu Yerusaalemi.

3Bagambe nti, “Bwʼati Mukama Katonda wa Isirayiri bwʼayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo byʼendagaano eno

4bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi yʼe Misiri, okuva mu kikoomi kyʼomuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe,

5 ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo Mukama.”

6Mukama nʼaŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo byʼendagaano era mubikole.

7 Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.”

8Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bwʼomutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”

9Ate Mukama nʼaŋŋamba nti, “Waliwo olukwe mu basajja ba Yuda ne mu batuuze bʼomu Yerusaalemi.

10Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri nʼeya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe.

11Noolwekyo, bwʼatyo bwʼayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza.

12Ebibuga bya Yuda nʼabantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe nʼakamu nga bali mu nnaku.

13Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; nʼebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’ ”

14“Noolwekyo tosabira bantu bano, tobakaabiririra wadde okubegayiririra kubanga siribawulira mu biro lwe baligwako akabi.”

15 “Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ngʼate akoze ebyʼekivve? Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja? Okola ebibi nʼolyoka ojaguza!

16Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo, oguliko ebibala ebirungi. Naye ajja kugukumako omuliro nʼokuwuuma okwʼomuyaga ogwʼamaanyi, amatabi gaagwo gakutuke.”

17Mukama Katonda owʼEggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri nʼennyumba ya Yuda zikoze ebyʼekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane.

18Mukama yambikkulira nnamanyisa mu bbanga eryo olukwe lwe baali bansalira.

19 Nnali ngʼomwana gwʼendiga gwe batwala okuttibwa. Nnali simanyi nga nze gwe baali balyamu olukwe, nga bagamba nti, “Ka tuzikirize omuti nʼekibala kyagwo, ka tumutemere ddala ave ku nsi yʼabalamu, erinnya lye lireme okuddayo okujjukirwa nʼakatono.”

20Naye ggwe Mukama Katonda owʼEggye, alamula mu bwenkanya, agezesa omutima nʼebirowoozo, ka ndabe bwʼobawoolera eggwanga, kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.

21“Noolwekyo bwʼatyo bwʼayogera Mukama Katonda ku basajja bʼe Anasosi abanoonya obulamu bwo nga bagamba nti, ‘Totubuulira bunnabbi mu linnya lya Mukama, tuleme okukutta.’

22Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, ‘Laba, nzija kutta abavubuka nʼekitala; ne batabani baabwe nʼabawala bafe enjala.

23So tewaliba nʼomu alisigalawo, kubanga ndireeta akabi ku basajja bʼe Anasosi, mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>