Yeremiya 12:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1 Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda, bwe nkuleetera ensonga yange. Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gyʼoli. Lwaki abakozi bʼebibi baba mu kwesiima? Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obwʼemirembe?

2Wabasimba, emirandira ne ginywera, bakula ne baleeta ebibala. Tova ku mimwa gyabwe bulijjo wadde ngʼoliwala nʼemitima gyabwe.

3Ate ngʼommanyi Ayi Mukama Katonda, ondaba era otegeera bye nkulowoozaako. Sika otwale abasajja bano ababi ngʼendiga ezigenda okuttibwa. Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.

4Ensi erikoma ddi okwonooneka, nʼomuddo mu buli nnimiro okukala? Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi, ensolo nʼebinyonyi bizikiridde, kubanga abantu bagamba nti, “Katonda taalabe binaatutuukako.”

5“Bwʼoba owakana nʼabaddusi bʼembiro nʼoggwaamu amaanyi oyinza otya okudduka nʼembalaasi? Obanga mu nsi entereevu weesitadde nʼogwa bugwi, onoosobolayo otya mu nsiko yʼoku Yoludaani?

6 Ne baganda bo nʼabʼomu nnyumba ya kitaawo nabo bennyini bakwefuukidde, beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza. Tobeesiga wadde nga bakwogerako bulungi.”

7“Njabulidde ennyumba yange, ne ndeka omugabo gwange; mpaddeyo abo emmeeme yange bʼeyagala, mu mikono gyʼabalabe baabwe.

8Abantu bange be nalonda banfuukidde ngʼempologoma eri mu kibira; empulugumira, noolwekyo mbakyaye.

9Abantu bange be nalonda tebanfuukidde ngʼennyonyi erya ginnaazo eyʼamabala, ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba? Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ezʼomu nsiko muzireete zirye.

10Abasumba bangi boonoonye ennimiro yange eyʼemizabbibu, balinnyiridde ennimiro yange, ensi yange ennungi bagirese njereere.

11Eyonooneddwa efuuse ddungu esigadde awo ngʼenkaabirira. Ensi yonna efuuse matongo kubanga tewali muntu nʼomu agifaako.

12Abanyazi bazze batuuse ku nsozi zonna ezʼomu ddungu, kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya okuva ku nsonda emu eyʼensi okutuuka ku ndala, awataliiwo nʼomu kuwona.

13Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa. Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu. Bakwatiddwa ensonyi olwʼebibala bye bakunguddeyo, kubanga ebyo Mukama yʼabikoze olwʼobusungu bwe obungi.”

14Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo.

15Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye.

16Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa zʼabantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bwʼali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange.

17Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bwʼayogera Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>