1Bwʼati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.”
2Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.
3Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri
4nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali gʼomugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lwʼolwazi.”
5Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali gʼomugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.
6Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.”
7Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.
8Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti,
9“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi.
10Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bwʼemitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza nʼokubasinza, bajja kuba ngʼolukoba olwo olutaliiko kye lugasa.
11Ngʼolukoba bwe lunywerera mu kiwato kyʼomuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna nʼeya Yuda zinneesibeko,’ bwʼayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange nʼettendo; naye bo ne batawulira.’ ”
12“Bagambe bwʼoti nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza wayini.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza wayini?’
13Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi eyʼobwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi nʼabantu bonna abʼomu Yerusaalemi.
14Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bwʼayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’”
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27