Yeremiya 14:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.

2“Yuda ekungubaga nʼebibuga byayo bifaafaaganye, bakaabira ensi, era omulanga gusimbuse mu Yerusaalemi.

3Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi; bagenda mu ttanka ezʼomu ttaka nga temuli kantu, bakomawo nʼebintu ebikalu; ensonyi nga zibakutte nʼessuubi nga libaweddemu; babikka amaaso gaabwe.

4Ettaka lyatise kubanga enkuba tekyatonnya, abalimi baweddemu amaanyi, babikka ku mitwe gyabwe.

5Nʼempeewo ku ttale ezaala nʼereka awo omwana gwayo kubanga tewali muddo.

6Nʼennyumbu ezʼomu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu nga ziwejjawejja ngʼebibe, amaaso gaazo nga tegalaba bulungi kubanga tezirina kye zirya.”

6

7“Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama, baako kyʼokola olwʼerinnya lyo. Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi, tukwonoonye nnyo.

8Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri, Omulokozi waalyo mu biseera ebyʼokulabiramu ennaku, lwaki oli ngʼomuyise mu nsi, ngʼomutambuze asula ekiro ekimu?

9Lwaki oli ngʼomuntu gwe baguddeko obugwi, ngʼomulwanyi ataliimu maanyi ganunula? Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe, era tuyitibwa linnya lyo. Totuleka.”

10Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda ku bantu be nti, “Baagala nnyo okubula, tebaziyiza bigere byabwe. Noolwekyo Mukama tabakkiriza era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe era ababonereze olwʼebibi byabwe.”

11Awo Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi.

12Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo ebyʼempeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza nʼekitala, nʼenjala ne kawumpuli.”

13Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’”

14Awo Mukama nʼalyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obwʼobulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okwʼobulimba nʼobunnabbi obutaliimu, nʼobutaliimu bwʼemitima gyabwe.

15Noolwekyo, bwʼatyo bwʼayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala nʼenjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala nʼenjala.

16Nʼabantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala nʼekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, nʼabawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.

17“Kino kyʼoba obagamba nti, Leka amaaso gange gakulukute amaziga emisana nʼekiro awatali kukoma; kubanga muwala wange embeerera, abantu bange, bafunye ekiwundu ekinene, ekintu ekyʼamaanyi.

18Bwe ŋŋenda mu byalo ndaba abafumitiddwa nʼekitala! Bwe ŋŋenda mu kibuga ndaba okutaagulwataagulwa okwʼenjala. Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga kyokka nga bye boogera bya bulimba.”

18

19Yuda ogigaanidde ddala? Sayuuni ogyetamiriddwa ddala? Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa? Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye, ekiseera ekyʼokuwonyezebwa naye laba tufunye bulabe bwereere.

20Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe era nʼobutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, kubanga ddala twayonoona gyʼoli.

21Olwʼerinnya lyo totugoba, tovumaganyisa ntebe yo eyʼobwakabaka eyʼekitiibwa. Jjukira endagaano gye wakola naffe, togimenya, gituukirize.

22Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba? Eggulu ku bwʼalyo lisobola okuleeta enkuba? Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe. Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe, kubanga ggwe okola bino byonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>