Yeremiya 15:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Mukama nʼalyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire.

2 Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’

2Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti, Abʼokuttibwa bagenda kuttibwa, nʼabʼekitala bafe ekitala, nʼabʼenjala bafe enjala, nʼabʼokuwambibwa bawambibwe.’ ”

3“Ndiweereza engeri nnya ezʼokubazikiriza,” bwʼayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi ebyʼomu bbanga nʼensolo ezʼomu nsiko zirye nʼokuzikiriza.

4 Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi nʼeruuyi mu bwakabaka bwonna obwʼomu nsi olwʼekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.

5Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?

6Mwanneegaana,” bwʼayogera Mukama. “Temutya kudda nnyuma. Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange ne mbazikiriza. Sikyasobola kukukwatirwa kisa.

7Era ndibakuŋŋunta nʼakakuŋŋunta mu miryango gyʼebibuga ebyʼomu nsi. Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo kubanga tebaaleka makubo gaabwe.

8Bannamwandu beeyongedde obungi okusinga nʼomusenyu gwʼennyanja. Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza amalewo ababazaalira abalenzi abato. Mbakubiddewo obubalagaze nʼentiisa.

9Eyazaala omusanvu ayongobedde, awejjawejja. Enjuba ye egudde nga bukyali misana, amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde. Nʼabo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala, mu maaso ga balabe baabwe,”

9bwayogera Mukama.

10Zinsanze, mmange lwaki wanzaala omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya? Siwolanga wadde okweyazika, kyokka buli muntu ankolimira.

11Mukama agamba nti, “Ddala ndikununula olwʼekigendererwa ekirungi, ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira, mu biseera ebyʼokuluma obujiji, mu biseera ebyʼakabi.

12Omusajja ayinza okumenya ekikomo oba ekyuma ekyʼomu bukiikakkono?

13Ndiwaayo ebyʼobugagga byo nʼebintu byo ebyʼomuwendo ennyo binyagibwe awatali kusasulwa, olwʼebibi byo byonna ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.

14 Ndibafuula abasibe bʼabalabe bammwe mu ggwanga lye mutamanyi, kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro ogunaabookya gubamalewo.”

15Ayi Mukama ggwe omanyi byonna. Nzijukira ondabirire. Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya. Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala. Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.

16Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya, byali ssanyu era okujaguza kwʼomutima gwange. Kubanga mpitibwa linnya lyo, Ayi Mukama Katonda owʼEggye.

17Situulangako mu kuŋŋaaniro lyʼabo abʼebinyumu era sibeerangako mu biduula nabo. Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo, era wandeetera okwekyawa.

18Lwaki okulumwa kwange tekukoma era nʼekiwundu kyange ne kitawona? Onomberera ngʼakagga akalimbalimba ngʼensulo ekalira?

19Noolwekyo kino Mukama kyʼagamba nti, “Bwe muneenenya, ndibakomyawo musobole okumpeereza; bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde, mulibeera boogezi bange. Leka abantu bano be baba bajja gyʼoli, so si ggwe okugenda gye bali.

20Ndikufuula ekisenge eri abantu bano, ekisenge ekinywezebbwa ekyʼekikomo. Balikulwanyisa naye tebalikuwangula, kubanga ndi naawe, okukununula, nʼokukulokola,”

20bwʼayogera Mukama.

21“Ndikununula okuva mu mukono gwʼabakozi bʼebibi era nʼenkuggya mu mukono gwʼabasajja abakambwe,” bwʼayogera Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>