Yeremiya 16:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti,

2“Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino.

3Kubanga kino Mukama kyʼagamba ku balenzi nʼabawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe.

4Balifa endwadde ezʼakabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ngʼebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; nʼemirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi ebyʼomu bbanga nʼebisolo ebyʼomu nsiko.”

5Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere yʼolumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange nʼokwagala kwange era nʼokusaasira kwange ku bantu bano,” bwʼayogera Mukama.

6Bonna abʼekitiibwa nʼabakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe.

7Tewaliba nʼomu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba nʼomu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.

8Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu nʼotuula okulya nʼokunywa.

9 Kubanga kino Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri, kyʼagamba nti, “Nga weerabirako nʼamaaso go, mu nnaku zʼobulamu bwo, ndikomya eddoboozi eryʼessanyu era nʼeryʼokwesiima eryʼabagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.”

10“Bwʼoligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’

11Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bwʼayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange.

12Era mweyisizza bubi nʼokusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ngʼakakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo kyʼokuŋŋondera.

13Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana nʼekiro, era siribakwatirwa kisa.’

14“Naye ennaku zijja,” bwʼayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bwʼali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi yʼe Misiri,’

15naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bwʼali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi eyʼomu bukiikakkono era nʼokuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.

16“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bwʼayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ngʼekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi.

17Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa.

18Ndibasasula olwʼobutali butuukirivu bwabwe nʼolwʼekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olwʼebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, ebyʼemizizo.”

19Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, ekiddukiro kyange mu biro ebyʼokulabiramu ennaku, bannaggwanga balijja gyʼoli, okuva ku nkomerero zʼensi bagambe nti, “Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda abʼobulimba, ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.

20Abantu beekolera bakatonda baabwe? Ye, naye si Katonda!”

20

21Noolwekyo ndibayigiriza, ku mulundi guno; ŋŋenda kubalaga amaanyi gange nʼobuyinza bwange. Olwo balyoke bamanye nti erinnya lyange nze Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>