1“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa nʼekkalaamu eyʼekyumanʼejjinja essongovu;kirambiddwa ku mayinja gʼemitima gyabwene ku mayembe gʼebyoto byabwe.
2Nʼabaana baabwe basinzizaku byoto bya bakatonda ba Aseraebiri ku buli muti oguyimiriddeera ne ku busozi obuwanvu.
3Olusozi lwange oluli mu nsi,obugagga bwammwe nʼebintu byo ebyʼomuwendo byonna,ndibiwaayo byonna binyagibwenʼebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakiraolwʼekibi ekibunye mu nsi yonna.
4Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gyʼotomanyangako,kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwaogunaayakanga emirembe gyonna.”
8ⓖ Ali ngʼomuti ogusimbiddwa awali amazzi,ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali gʼomugga,nga wadde omusana gujja, tegutyanʼamakoola gaagwo tegawotoka,so tegulyeraliikirira mu mwaka ogwʼekyeyaera teguliremwa kubala bibala.
19Bwʼati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gwʼabantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira nʼokufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi.
20Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nʼabantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gyʼekibuga.
21ⓘ Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna,
22ⓙ era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’
24Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bwʼayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gyʼekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna,
25olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gyʼekibuga nʼabakungu baabwe. Bo nʼabakungu baabwe baakujja ngʼabamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda nʼabo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna.
26Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi zʼebugwanjuba, nʼokuva mu nsi eyʼensozi eyʼe Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo ebyʼempeke, nʼobubaane era nʼebiweebwayo ebyʼokwebaza mu nnyumba ya Mukama.
27Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”