Yeremiya 18:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Kino kyʼekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti,

2“Serengeta mu nnyumba yʼomubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.”

3Awo ne nserengeta eri ennyumba yʼomubumbi ne mmulaba ngʼakolera emirimu gye ku nnamuziga.

4Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ngʼakibumba nga bwe yasiima.

5Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti,

6“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ngʼomubumbi ono bwʼakoze?” bwʼayogera Mukama. “Okufaanana ngʼebbumba mu mukono gwʼomubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri.

7Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era nʼokuzikirizibwa,

8era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola.

9Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba,

10era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.”

11“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda nʼabo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama kyʼayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe nʼebikolwa byammwe.’

12Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso ne ntegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ngʼobukakanyavu bwʼomutima gwe bwe buli.’ ”

13Noolwekyo bwʼati Mukama ngʼagamba nti, “Mwebuuzeeko mu mawanga. Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti? Muwala wange Isirayiri akoze ekintu ekyʼekivve.

14Omuzira oguli ku Lebanooni gwali guwedde ku njazi zaakwo? Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala gaali galeseeyoko okukulukuta?

15Naye ate abantu bange banneerabidde, banyookezza obubaane eri bakatonda abalala, abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe era ne mu makubo agʼedda era ne balaga mu bukubokubo.

16Ensi yaabwe ya kusigala matongo, ekintu ekyʼokusekererwa emirembe gyonna, abo bonna abayise balyewuunya era ne banyeenya emitwe gyabwe.

17Ndibasaasaanya mu maaso gʼabalabe baabwe ngʼempewo eva ebuvanjuba; ndibalaga mabega so si maaso gange ku lunaku olwʼokulabirako ennaku.”

18Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, nʼamagezi tunaagafunanga ku bagezi, era nʼebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

19Ompulirize, Ayi Mukama, owulirize abampakanya kye bagamba.

20Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi? Bansimidde obunnya. Ojjukire nga nayimirira mu maaso go ne nkaaba ku lwabwe, nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.

21Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala, obaweeyo battibwe nʼekitala. Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu; abasajja baabwe battibwe; abavubuka baabwe batirimbulwe nʼekitala mu lutalo.

22Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe, bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo, kubanga bansimidde ekinnya bankwate era bateze ebigere byange emitego.

23Naye Ayi Mukama, gwʼomanyi byonna, bye bateesa banzite. Tobasonyiwa byonoono byabwe wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go. Obawangulire ddala, era obabonereze mu kiseera kyʼobusungu bwo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>