1Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi eyʼebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona,
2
3Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu.
4Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gwʼabataliiko musango.
5
6Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ngʼekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu ekyʼettambiro.
7“ ‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gyʼabalabe baabwe battibwe nʼekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere yʼebinyonyi ebyʼomu bbanga nʼebisolo ebyʼomu nsiko.
8Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula ekyʼokusekererwa, nʼabo bonna abayitawo bennyamire era baseke olwʼebiwundu byakyo byonna.
9Olwʼokuzingizibwa nʼokunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe nʼegyʼabawala baabwe era buli omu alirya munne.’
10“Awo nʼolyoka omenya ensumbi abo bʼogenze nʼabo nga balaba,
11obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino nʼekibuga kino ngʼensumbi yʼomubumbi eno bwʼengiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula.
12Kino kye ndikola ekifo kino nʼabo abakibeeramu, bwʼayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi.
13Amayumba gʼomu Yerusaalemi nʼaga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ngʼago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda abʼomu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”
14Awo Yeremiya nʼakomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, nʼayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama nʼagamba abantu bonna nti,
15“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”