Yeremiya 2:1-37 LGCB2014 - Bible AI

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti,

2Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,

2“Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ngʼokyali muto, engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa, wangoberera mu ddungu mu nsi etali nnime.

3Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama, ebibala ebibereberye ebyamakungula ge; bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango, akabi nga kabatuukako,”

3bwʼayogera Mukama Katonda.

4Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo, era nʼabʼenju zonna ezʼebika ebyʼomu Isirayiri.

5Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako ne bagenda ewala ennyo bwe batyo? Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole nʼemikono ebitaliimu nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.

6Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi yʼe Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi eyʼamalungu nʼobunnya, mu nsi enkalu nʼekisiikirize ekyʼokufa, mu nsi omutali muntu nʼomu, so nʼomuntu yenna mwʼatayinza kuyita?”

7Ne mbaleeta mu nsi engimu, mulye ebibala byamu nʼebintu ebirungi. Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange, ne mufuula omugabo gwange ekivume.

8Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?” Abo abakola ku mateeka tebammanya. Abakulembeze ne banjeemera. Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.

9“Kyenva nnyongera okubalumiriza,” “Era ndirumiriza nʼabaana bʼabaana bammwe.

9bwʼayogera Mukama,

10Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; era mutume e Kedali, mwetegereze. Mujja kulaba nga tekibangawo.

11Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo, wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe nʼebitagasa.

12Wewuunye ggwe eggulu, era okankane nʼentiisa eyʼamaanyi,”

12bwʼayogera Mukama.

13“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri, banvuddeko nze ensulo eyʼamazzi amalamu ne beesimira ettanka ezʼomu ttaka, ettanka ezʼomu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”

14“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale? Kale lwaki afuuse omuyiggo?

15Bamuwulugumirako ngʼempologoma bwʼewuluguma, abalabe bawulugumye nnyo. Ensi ye efuuse matongo, ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu nʼomu.

16Ate era abasajja bʼe Noofu nʼe Tapenesi bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.

17Si ggwe weeretedde bino ngʼova ku Mukama Katonda wo, eyakukulemberanga akulage ekkubo?

18Kaakano olowooza onooganyulwamu ki okugenda okukolagana ne Misiri? Olowooza kiki kyʼonoganyulwa bwʼonogenda okukolagana ne Bwasuli?

19Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza, nʼokudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango. Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era ekyʼomutawaana gyʼoli bwʼova ku Mukama Katonda wo, nʼoba nga tokyantya,”

19bwʼayogera Mukama, Katonda owʼeggye.

20Mukama owʼeggye agamba nti, “Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange, nʼogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’ Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi wʼomuti oguyimiridde wakuba obwamalaaya ngʼovuunamira bakatonda abalala.

21Songa nnali nkusimbye ngʼoli muzabbibu omulungi, ensigo eteriimu kikyamu nʼakatono, naye ate lwaki oyonoonese nʼofuuka ngʼomuzabbibu ogwʼomu nsiko?

22Kubanga ne bwʼonaaba nʼoluvu nʼokozesa ne sabbuuni omungi, naye era ebbala lyo nʼobutali butuukirivu bwo bisigala bikyalabika,”

22bwʼayogera Mukama Katonda.

23Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga, sigobereranga ba Baali?” Jjukira bwe weeyisa ngʼoli mu kiwonvu; tegeere kye wakola. Oli ngʼeŋŋamira enkazi efuumuuka embiro ngeraga eno nʼeri,

24ngʼendogoyi eyʼomu nsiko eddukira mu ddungu mwʼemanyidde, ngʼewunyiriza mu bbanga eno nʼeri mu kwaka kwayo, mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza? Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya; mu biseera byʼokulabaganiramu za kugifuna.

25Tokooya bigere byo, era tokaza mimiro gyo. Naye nʼoddamu nti, “Ebyo bya bwereere, sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala, nteekwa okubanoonya.”

26Ngʼomubbi bwʼaswala ngʼakwatiddwa, nʼennyumba ya Isirayiri bwʼeswala bwʼetyo, bakabaka baayo, nʼabalangira baayo, ne bakabona baayo, era ne bannabbi baayo,

27nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,” era nʼejjinja nti, “Ggwe wanzaala.” Bankubye amabega, naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”

28Kale bakatonda be weekolera baluwa? Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera ebyʼemitawaana. Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe bwenkanankana nʼebibuga byo ggwe Yuda.

29“Lwaki munneemulugunyiza? Mwenna mwanneeddiimira,”

29bwʼayogera Mukama.

30Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere, tebakkiriza kugololwa. Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe ngʼempologoma bwʼetta.

31Mmwe abʼomulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda. Mbadde nga ddungu gye muli ngʼensi ejjudde ekizikiza ekyʼamaanyi? Kale lwaki abantu bange bagamba nti, “Tulina eddembe, tetukyadda gyʼoli?”

32Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo, oba omugole okwerabira ekyambalo kye? Naye ngʼate abantu bange Bannerabidde!

33Ngʼomanyi nnyo okukuba amakubo agʼokunoonya abanaakwagala! Nʼasembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.

34Engoye zo zijjudde omusaayi gwʼabaavu nʼabatalina musango, awatali kugamba nti bakwatibwa nga babba. Ate nga wadde byonna biri bwe bityo

35ogamba nti, “Sirina musango, ddala takyanninako busungu!” Laba, ŋŋenda kukusalira omusango olwʼokugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”

36Lwaki ogenda ngʼokyusakyusa amakubo go! Misiri ejja kukuswaza nga Bwasuli bwe yakuswaza.

37Era nʼeyo olivaayo ngʼemikono ogyetisse ku mutwe, kubanga Mukama agaanye abo be weesiga; tagenda kukuyamba.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>